Bakaayanidde omulambo gwa taata wa Bobi Wine: Aziikwa Lwakuna

KATONO omulambo gw’omugenzi Willington Jackson Ssentamu Kitaawe wa Bobi Wine, gulemera mu ddwaaliro e Mulago olwa batabani be abaagukaayanidde nga buli omu ayagala gusuleko ewuwe nga tegunnatwalibwa mu kyalo e Ggomba.

Bya Josephat Sseguya

KATONO omulambo gw’omugenzi Willington Jackson Ssentamu  Kitaawe wa Bobi Wine, gulemera mu ddwaaliro e Mulago olwa batabani be abaagukaayanidde nga buli omu ayagala gusuleko ewuwe nga tegunnatwalibwa mu kyalo e Ggomba.

Omugenzi Willington Jackson Ssentamu eyakazibwako erya Bulaaya, y’azaala abayimbi b’ekibiina kya Fire Base, Bobi Wine, Mickie Wine, Banjoman, Eddie Yawe (ali mu Afrigo) n’abalala. 

Omu ku Bannamwandu abasatu omugenzi b’alese, Alice Ssentamu, era nga y’abadde  ajjanjaba omulwadde yatutegeezezza nti, Ssentamu yafudde ggulo ku Lwokubiri ku ssaawa ssatu ez’oku makya bwe yabadde aggyibwa e Kasangati gy’abadde abeera okumutwala mu ddwaaliro e Mulago alabe omusawo abadde amujjanjaba.

Ssaawa we zaaweredde omukaaga, abaana bangi ababeera e Kampala baabadde bamaze okukung’aanira ku kifo ekimanyiddwa nga Kamwokya Platform ekya, Fred Nyanzi eyakazibwako erya Chairman Nyanzi nga naye mutabani wa mugenzi.

Olukiiko lw’ekika olutakkiriziddwaamu batali ba luganda, lwabadde lwa bbugumu ng’abaana abamu baagala be baba basuza omugenzi nga bagamba nti, abantu bangi abamanyi kitaabwe mu Kampala n’abamumanyidde ku baana be engeri gye bali basereebu era nabo bangi ate nga ne kitaabwe abadde afuuse sereebu.

Ekiteeso kyawakanyiziddwa Eddie Yawe n’atuuka n’okwekandagga n’ava mu lukiiko.

Bakkanyizza asule mu Kampala atwalibwe enkeera e Kanoni asuzibwe mu gamu ku maka ge kyokka ate nawo ne wavaawo okukukaayana ku maka ki gy’anaasula.

Abasinga baabadde baagala asule ewa Bobi Wine e Magere kyokka nga waliwo abagamba nti eyo wala wajja kuzibuwalira abakungubazi ng’abamu baagala asule ewa Eddie Yawe.

Ebirala ku Mzee Sssentamu....

Kino bwe kyazzeemu enkalu ne wabaawo abateesa asule ku kifo kya Kamwokya Platform kubanga ettaka okuli ebizimbe bino n’ennyumba eyasookawo omu ku bakyalabe, Margaret Nalunkuuma azaala Mickie Wine, Eddie Yawe, Banjoman, Bobi Wine, Nyanzi n’abalala ye yabigula nga baagala naye afune omukisa okusuza ku bba (wadde yafa).

Kyokka kino Kojja w’abaana, George William Ssemukasa yakigaanye nti omusajja alina amaka agakyalimu abakyala abakyaliwo kiba kikyamu okusula mu kifo ekyo ate nga kati kyafuulibwa bbaala.

Bonna bakkirizza asuzibwe ewa Bobi Wine e Magere olwo Bobi n’avuga mmotoka ye ey’ekika kya Tundra  agende ategeke wabula wano abaana abamu bazzeemu ne bakuba obukiiko obutonotono nga baagala omulambo gutwalibwe butereevu e Kanoni.

Bano nabo beetemyemu nga waliwo abaagala gutwalibwe mu maka amakulu ag’omugenzi agasangibwa ku kyalo Wasinda okumpi n’e Kanoni nga wano weewali n’ekiggya kyokka nga waliwo abaagala asuzibwe mu maka agasangibwa mu tawuni e Kanoni.

Namwandu Alice naye oluvannyuma yabadde ayagala gutwalibwe ku kiggya abatuuze b’e Ggomba bagusuzeeko. 

E Wasinda we wali nnamwandu Alice abadde amujjanjaba ate e Kanoni mu tawuni wa nnamwandu Nantumbwe.   Omulambo gwaggyiddwa mu ddwaaliro e Mulago ku ssaawa nga 12.00 ez’akawungeezi ne gutuuka e Magere mu maka ga Bobi Wine ku ssaawa nga 1.00 ey’ekiro. 

Ebirala ebyakkaanyiziddwako okuzinziira ku Nyanzi kwe kuggya omulambo e Magere ku Lwokusatu guwummuzibweko ku Kamwokya Platform we gunaggyibwa ku ssaawa nnya ez’oku makya gutwalibwe mu Klezia ya Holy Trinity e Kamwokya n’oluvannyuma e Wasinda gukuumirwe olumbe ate guziikibwe ku Lwokuna ku ssaawa munaana. 

Ssentamu yafudde sukaali n’ekifuba ku myaka 80 okusinziira ku mukoddomiwe, Ssemukasa eyategeezezza nti yazaalibwa 1935 e Bubuule mu Mawokota n’asenga e Kanoni Ggomba gy’abadde obulamu bwe bwonna ng’alinayo amaka asatu.

Bakaayanidde omulambo gwa taata wa Bobi Wine: Aziikwa Lwakuna