Omuyimbi Harriet Kisakye afudde

OMUYIMBI Harriet Kisaakye eyayimba Kandar ne 'Omusajja agwana mu ccupa' afudde.

OMUYIMBI Harriet Kisaakye, 34, eyayimba Kandar ne 'Omusajja agwana mu ccupa' afudde.

Kisakye afiiridde mu ddwaaliro IHK erisangibwa e Namuwongo ku ssaawa 11 az'akawungeezi oluvannyuma lwa Dr. Kiiza Besigye okumuggya e Mulago ku Lwokuna n'amutwala mu ddwaaliro lino okufuna obujjanjabi obusingawo.

Kisakye ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde bino bye bigambo bye yayogedde n'omusasi waffe:

“Mu linnya lya Yesu nteekwa okuwona, e Mulago si maka gange era nkimanyi nneebulunguddwa olukomera lwa bamalayika……” 

Ebyo bye bimu ku bigambo ebitono omuyimbi Harriet Kisakye gwe baakazaako erya ‘Kandahar’ bye yasobodde okwogera nga bayimbi banne bamukyalidde mu ddwaaliro e Mulago gy’ali.

Omuyimbi Mathius Walukagga y'omu ku baalambudde Kisakye mu ddwaaliro e Mulago wiiki ewedde

Kisakye amaze emyezi esatu nga mulwadde - Betty Mpologoma
BETTY Mpologoma bwe babadde  bayimba ne Kisakye mu bbandi ye (eya Kisakye) eya Riders ate nga mukwano gwe nfa nfe yagambye nti Kisakye amaze emyezi esatu ng’akaaba mukono ogumuluma, kyokka olumu nga yeewaliriza n’ayimba.

Mpologoma omu ku babadde bajjanjaba Kisakye mu ddwaaliro e Mulago wiiki ewedde yategeezezza Bukedde nti Kisakye yasemba okulabikako ku siteegi nga March 20, 2015 ku kivvulu ekimu e Kalangala nga ne ku mulundi ogwo kwali kumukaka olw’abawagizi be abaali baleekaanira waggulu nga bagamba nti bamwagala ku siteegi.

Wadde nga yeewaliriza n’alinnya ku siteegi teyayimba olw’obulumi bwe yalimu. Abawagizi bwe baamulabako ne bamatira era bangi ne badda mu kumusaasira bwe yabalaga omukono ogwali guzimbye nga kuliko n’ebbwa.

Bwe yabuuziddwa ku ky’obulwadde obuluma Kisakye , Mpologoma yateegezezza nga bwe bakyalinze alipoota okuva mu basawo kubanga bano kumpi buli lunaku babadde bamwekebejja naye nga tebannazuula kituufu wadde nga bagezezzaako okumujjanjaba.

“Kisakye agamba nti yasooka kufuna kusiiyibwa ku mukono okwavaamu ebbwa lye yagezaako okujjanjaba nga teriwona. Kino kyaviirako abamu okuliyita ettalo era ne bagezaako okulijjanjaba mu nkola y’ekinannsi naye nga tewali kikyukako.

Yagenda mu ddwaaliro e Nsambya bamwekebejje naye tebalina kye baazuula.”

Bwe yabuuziddwa oba waliwo ‘ensawo’ eyenjawulo essiddwaawo abaagala okudduukirira Kisakye gye bayinza okuteeka obuyambi, Mpologoma yategeezezza ng’enteekateeka eno bw’erowoozebwako wadde nga wabadde tewannabaawo muntu oba abantu abatongole abassiddwaawo okukikola.

Yagasseeko nti abantu ab’enjawulo bagenda mu maaso n’okumulambula mu ddwaaliro n’okumuwa obuyambi eri abo ababulina.

“Kisaakye tagaana bantu kumulambula lwakuba nti olumu aba yeetaaga okuwummulamu naye ng’abantu bangi abamulambudde nga Irene Namatovu ne bba Lutaaya, Desire Luzinda, Stabua Natoolo wamu ne bannabyabufuzi abamu bamulambudde n’okumusaasira” Betty Mpologoma bwe yagambye. 

Entambi ezitunze Harriet Kisakye

Alina ne ÔGye nvudde tebibadde birungi nga mu luno ayimba ku bizibu eby’enjawulo by’ayiseemu okutuuka waali.

AMAANYI GA KISAKYE:

 • Alabika bulungi era wadde alina emyaka 34, bw’omulaba alabika ng’atagiweza. Bwe yayimba Baby face mu 2012, bangi baalwagala nga balaba lumufaanana olwa ÔBaby faceÕ gy’alina.
 • Ennyimba ze zikwata ku mbeera ebaawo. Okugeza bwe yayimba Ekinigeria lwakwatayo kuba ekiseera ekyo Ebinigeria byali birabibwa nnyo mu Uganda. 
 • Kuno kw’ogatta ÔKandaharÕ nga nalwo yaluleetera mu kiseera kituufu ng’ekigambo ‘Kandahar, Osama Bin Laden gye yali yeekwese kye kiri ku mimwa gya Bannayuganda.Ennyimba ze ezisinga y’azeewandiikira.
 • Engeri gy’alina bandi eyiye kimuwa enkizo nnene mu kisaawe ky’okuyimba.

ENSONGA Z’OMUKWANO:


Bwe yali anyumyamu ne Bukedde mu 2012 ng’egenda okutongoza olutambi lwa ‘Baby Face’ yategeeza nti wadde talina musajja naye alinayo abaana be babiri.

Emu ku nsonga gye yawa emulemesezza okutereera mu bufumbo kwe kuba ng’abasajja abasinga abamusaba okumuwasa Basiraamu ate nga ye mukazi Mukatoliki.ENTAMBI ZE EZISINZE OKUNYUMA:

 • Kandahar
 • Kinayigeria
 • Gye nvudde tebibadde birungi
 • Ssentala w’omutima
 • Tuligamba ki abaana
 • Eno ye Answer
 • Baby face.

Kisakye nga bw'abadde afaana

ETTUTUMU LYA KISAAKYE:

Okuyimba yakutandika mu 2004 bwe yayingira Pride Band. Oluvannyuma yagenda mu Josam’s Band naye teyabandaalayo n’atandika bandi ye gye yatuuma Riders Bandi.

Olutambi lwa ‘Ekinigeria’ lwe yakuba mu 2007 lwe lwasinga okumutunda n’aganja naddala mu bakazi olw’obukodyo bwe yali ayimbako abakazi bwe bayinza okukozesa okusiba abasajja baabwe baleme kwenda nga bali mu bufumbo.

Lwajjira mu kiseera Ebinigeria we byacaakira ennyo mu Uganda era bye yayimbangako gamba nti ‘....omusajja omuteeka mu ccupa.....’, bye byazannyibwanga mu Binigeria ebisinga.

Wabula oluyimba luno lwamuvumaganya naddala mu masinzizo era waliwo munnaddiini eyamulumba ng’agamba nti by’ayimba biwabya abantu naddala abakazi.

Ate olutambi lwa Kandahar yalufulumiza mu kiseera Osama Bin Laden we yakubira ebizimbe mu New York ekya Amerika mu 2001, n’adduka ne yeekukuma mu nsozi z’e Kandahar mu Afghanistan.

Wabula Bannakampala ekigambo ‘Kandahar’ baakiggyamu ekifo ekyekusifu abaagalana gye bayinza okugenda okwesanyusa.

Olutambi lwa Kisakye olwa ‘Ebintu tubirye’ nalwo luganzi nnyo mu bantu kubanga lukubwa kyenkana ku buli mukolo gw’okwanjula.

 

Entambi endala z’alina mulimu Baby face lwe yatongoza nga March 30, 2012 ku Club Obligatto. Wano yali yeeyimbako engeri gy’asobodde okwekuuma nga takaddiwa era okuva olwo abamu bamweyitira ‘Baby Face.

EBIZIBU BY’AFUNYE:

1. Mu 2005, mwannyina Vincent Lugonvu eyali ssentebe w’ettabi ly’ekibiina kya Uganda Young Democrats e Makerere ku yunivasite yattibwa abantu abataategeerekeka.

2. Omwaka oguwedde yagudde ku kabenje akaamazeewo mmotoka ye.

Kisakye azaalibwa Charles Musisi, ne Lillian Namwanje (yafa) e Kayunga mu Wakiso. 
Okuyimba yakutandikira mu lya St. Augustine College e Wakiso bwe yali mu kkwaaya y’essomero.

Abadde akyogera lunye nti wadde okuyimba takufunyeemu nnyo nsimbi naye afunye ettutumu.

KITALO NNYO!!!

...............................................................................................................

EBIRALA......

...............................................................................................................................

Omuyimbi Harriet Kisakye afudde