Bba amugobye awaka namulumako n'ennyindo

Omukazi bba amulumyeko ennyindo lwa kulemera mu nju. Rehema Nalukenge omutuuze we Nabweru agamba nti bba Edward Kyambadde gwamaze naye emyaka mwenda nga balina n'omwana yakomyewo ng'atamidde era nga mukambwe nnyo.

Bya Deborah Nanfuka

Omukazi bba amulumyeko ennyindo lwa kulemera mu nju. Rehema Nalukenge omutuuze we Nabweru agamba nti bba Edward Kyambadde gwamaze naye emyaka mwenda nga balina n'omwana yakomyewo ng'atamidde era nga mukambwe nnyo.

“Namukulisizaayo nga taddamu kwekumujjulira emmere era nengissa ku mmeeza n’entuula mu ntebe mulinde amale okulya.” Nalukenge bweyategeezezza.

Kyambadde yasituse mu ntebe n'annumba nga bwandagira okusiba ebintu byange nfulume ze nenzirukira mu kisenge. Eno nayo yannum,byeyo nanzigunda ebikonde.

"Omusajja yankubye nga bwanvuma nti “nakukyawa dda nviira mu nnyumba yange okaddiye nze njagala kuwasa muto,” olwo n'ambuukira ennyindo n'agirumako n'agiwanda " Nalukenge bwe yategeezezza.

Baze yampasa ndi mwana muto kati amaze okunzaalamu omwana wa myaka munaana lwalaba nti mukadde?’ Nalukenge yeebuuzizza

Kyambadde yasibye enzigi zonna ng'amukuba era abatuuze be bazze ne babataasa olwo n'addukira ku poliisi ye Nabweru .

Poliisi yakutte Kyambadde n'emuggalira era n'agulibwako omusango guli ku SD Ref 54/21/06/2015 ku poliisi ye Nabweru okukuba n'okulumya mukyala we .

Nalukenge yawereddwa ekitanda mu ddwaaliro e Mulago nga mukiseera kino batekateeka kumusala akanyama ku kabina bakaseewo okuziba ekituli.

 

Bba amugobye awaka namulumako n''ennyindo