Abantu 6 okuva mu famire emu bakwatiddwa ku gw'okutta omuntu

Abateeberzebwa okutta omuntu olw'ettaka bakwatiddwa

Poliisi y’e Mayuge eggalidde abantu mukaaga okuva mu famire emu abagambibwa okutta omutuuze olw’ettaka. Abaakwatiddwa kuliko kitaabwe Haji Bulukani Kimera n’abaana; Kibuto Kimera, Mulani Kimera, Asuman Kimera

omuto ne Asuma Kimera omukulu ne Fred Mutekanga bonna ab’oku kyalo Wamulongo mu ggombolola y’e Mpungwe mu disitulikiti y’e Mayuge.

Abanoonyezebwa kuliko; Sharifa Kimera, Karim Kimera, Moses Mutekanga n’abalala abagambibwa okwenyigira mu butemu buno. Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Mayuge, Abdul Nasser Mulimira agamba nti abaakwatiddwa n’abalala poliisi b’enoonya baakedde ku makya g’Olwokuna ku ssaawa nga 12:00 ne bagenda mu nnimiro gye baalindidde omutuuze Zedekiya Mwesigwa, 57 ow’oku kyalo kye kimu gye baamukubidde ne bamutta. Mulimira agamba nti abaakwatiddwa baakulembeddwa munnaabwe Fred Mutekanga nga baduumirwa kitaabwe, Haji Kimera.

Kiddiridde abantu bano okukeera mu nnimiro ye gye yabadde akedde okulima nga baasoose kuwaanyisiganya bigambo era oluvannyuma baamukutte ne bamutwala mu kifo we baamuttidde.

Mulimira agamba nti bano bamaze emyaka ebiri nga bali ku mbiranye olw’ettaka ng’era emisango baagitwala mu kkooti oluvannyuma lwa Fred Mutekanga okuwawaabira Mwesigwa nti ayagala okubanyaga ettaka. Mwesigwa yasinga omusango era kkooti n’eragira abaakwatiddwa nga bakulemberwa Fred Mutekanga okumusasula obukadde musanvu.

Agattako nti baalemererwa okumusasula n’asalawo n’abasonyiwa wabula ne basigala nga bamuwalana okutuusa lwe baamusse. Mwesigwa abadde alina ettaka lye ddene nga kumpi kyalo kiramba wabula embiranye ebadde ku lusalosalo olwawula ettaka n’abaamusse nga bagamba nti waabwe ng’era babadde baasimbamu ebitooke.

Omu ku baana b’omugenzi, Rebecca Tibarwa agamba nti baakedde ku makya okugenda okulima wabula kitaabwe n’abaleka we baabadde n’agenda okulambula ettaka lye. Baabadde balima ne bawulira nga kitaabwe alina b’agamba nti nabagaana okusimba wano ebitooke n’okulimirawo.

Mu kulwanagana baamukutte ne bamutwala mu kifo gye baamukubidde n’okumutema ebijambiya n’enkumbi okutuusa lwe baamusse.

Tibarwa agamba nti badduse bagende kitaawe gy’ali kyokka baasanze attiddwa ng’alina ebisago ebinene ku mutwe.

Yannyonnyodde nti olwamaze okumutta ne bakwata ehhoma ne bagikuba okubuzaabuza ng’era abamu ku baamusse baabadde badduse nga beesibidde mu nnyumba ya kitaabwe, Haji Kimera poliisi gye yabakukunudde. Mulimira yategeezezza nti abaakwatiddwa bagenda kutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe omusango gw’okutta omuntu ng’abalala abadduse bakyanoonyezebwa.

Yasabye abatuuze okuba abakkakkamu n’obutatwalira mateeka mu ngalo. Omugenzi alese nnamwandu Harriet Mwesigwa ne bamulekwa munaana