Ssebuufu ayungudde balooya okuva mu kkampuni 3 bamuggye e Luzira

Ssebuufu akya ttunka n'ogwokutta omuntu

 Ssebuufu

OMUGAGGA w’ekibanda ky’emmotoka ekya Payini, Muhammed Ssebuufu ayungudde ekibinja kya bannamateeka basabe kkooti esobole okumweyimirira ave mu kkomera e Luzira.

Ssebuufu abadde awolerezebwa munnamateeka we, Isaac Walukagga okuva mu MMAKS Advocates kyokka nga mu kusaba kwatadde mu Kkooti Enkulu ayungudde ekibinja kya bannamateeka okuva mu kkampuni okuli Patrick Fulah and Co. Advocates, Fredrick Kangwamu and Co. Advocates ne Byaruhanga and Co. Advocates.

Ssebuufu yasindikibwa mu kkomera e Luzira nga October 28 2015 bwe yaggulwako omusango gw’obutemu n’okubba essimu y’omu ngalo. Ezimu ku nsonga Sebuufu kw’asinzidde okusaba kkooti emweyimirire agamba nti atawaanyizibwa obulwadde bw’ensimbu era nga tasobola kufuna ndabirira nnungi omulwadde w’ensimbu gy’ateekeddwa okufuna.

Ssebuufu era agamba nti, mulwadde wa ssukaali ne puleesa teyandisaanidde kuba mu kkomera. Okuva Sebuufu lwe yasindikibwa mu kkomera e Luzira azze ekola katemba mu kkooti era ng’olumu yalemererwa okutambula okuva mu mmotoka nga kigambibwa nti, puleesa yali erinnye ate lumu yakaabira mu kaguli nga bakanyama be bwe bamukwatiridde.

Ssebuufu era agamba nti, mwetegefu okuleeta abantu ab’obuvunaanyizibwa 8 okumweyimirira singa kkooti eneeba emukkiriza. Abasuubirwa okuleetebwa ye munnamawulire wa Pulezidenti Museveni, Tamale Mirundi, akulira Dawa mu ggwanga Sheikh Nooh Batte Muzaata, Frank Gashumba n’abalala.

Ssebuufu agamba nti, ng’oggyeeko okuba nti alina eddembe okusaba okweyimirirwa, alina n’amaka e Najjeera n’abaana b’alabirira era okusigala e Luzira kigenda kukosa okusoma kwabwe.

Wabula kkooti tennawa lunaku lw’egenda kuwulira kusaba kuno. Banne b’avunaanibwa nabo okuli; Paul Tasingika, Philip Mirambe, Godfrey Kayizzi ne Stephen Lwanga tebannateekayo kusaba kwabwe.

Bino we bijjidde nga poliisi ne Ssaabawabi wa Gavumenti bagasse akulira poliisi ya CPS, Aaron Baguma ku fayiro y’obutemu ne Ssebuufu. Ssaabawaabi wa Gavumenti yakikkaatiriza nti, Baguma ateekwa okuvunaanibwa ne Ssebuufu. Omukazi Donah Katusabe yattibwa nga October 12, 2015 ku kibanda ky’emmotoka ekya Payini