Pulezidenti Museveni awadde abakyala ettu

Pulezidenti Museveni awadde abakyala ettu

 Abakulembeze b’abakyala okuva ku ddyo ye Jane Sekikubo akulira abakyala mu Klezia ya Orthodox, Emily Mwaka akulira abakyala mu Catholic Womens Guild ne Jane Male akulira Womens Fellowship e Namirembe nga bakwasa Lumumba ekirabo kye baamutonedde.

PULEZIDENTI Museveni awadde abakyala obukadde 10 okwekulaakulanya n’okulinnyisa omutindo gw’enfuna yaabwe.

Ssente zino yazitisse Ssaabawandiisi w’ekibiina kya NRM, Jacqueline Kasule Lumumba eyazibakwasirizza ku kiggwa ky’Abajulizi e Namugongo mu kusaba okw’ensi yonna okwetabiddwaamu abakyala bonna abakkiririza mu Kristo ku Lwokutaano. Lumumba yasabye abakyala bano okukozesa ekibiina kya NRM okwekulaakulanya.

Yabategeezezza nti waliwo omutemwa ogwabasuubizibwa Pulezidenti gwa bukadde 2 ku buli kyalo. Wabula Rev. Sr. Regina Nabagereka eyayigirizza yennyamidde olw’abakyala okwesuulirayo ogwa nnaggamba ne baleka abaana okutwalibwa sitaani nga balaba.

Olunaku luno olusooka mu mwezi gw’okusatu abakyala mu nsi yonna bakuhhana mu bifo ebitali bimu okwesabira n’okusabira ensi okubukalamu emirembe. Okusaba kuno kwetabiddwaamu abakyala abasoba 2000 okuva mu nzikiriza y’Abakatoliki, Abakrisitaayo n’aba Orthodox.

Yagambye nti omulembe gwetuyita ogwa ‘Dotcom’ mwe tutambulira abazadde muwaddeyo baana bammwe eri omulabe sitaani nga mulaba.

Yagambye nti omukyala okukwata omwana n’omussa mu ‘Day Care’ bamulabirire, omwana ne bamuwa obukerenda obwebasa n’otwala omwana ku ssomero nga wa myaka esatu, abaana mubaleka ku ttivvi omukozi n’afa n’emirimu olwo muba mubayambye ki mu bulamu obujja mu maaso?

Yakubirizza abazadde okufuna obudde babeereko n’abaana baabwe boogere nabo ebigambo ebibazimba mu mubiri ne mu mwoyo