Eby'owa beetingi eyattiddwa birimu abooluganda

Eby’owa beetingi eyattiddwa birimu abooluganda

 Miiro yattiddwa.

EBY’OMUGAGGA bwa maneja wa “Goal Sports Betting” gwe baatemulidde ku ggeeti ye ng’ayingira amakaage e Namasuba Central Zooni biwanvuye bwe babiyingizzaamu abamu ku booluganda lwe okwekobaana ne bamutemula.

Freddie Miiro yatemulwa mu kiro ekyakeesa ku Lwomukaaga ng’ava okukuhhaanya ssente ku ttabi lyabwe eriri ku kizimbe kya Energy Centre ku luguudo lwa Market Street. Nnamwandu, Muky Sarah Kisakye yateegezza Bukedde nga bba yaakafa nti, bba yali anaatera okunnyuka n’amukubira essimu nti Kanyama we amukuuma yafiiriddwa era taliiwo n’amusaba amufunire owa bodaboda gwe yeesiga era n’akubira Bashir Luyima atera okumuvuga akolera ku Nasser Road omukyala gy’akolera n’amunona.

Baali babuzaayo mmita nga 20 okutuuka awaka ne basanga owa bodaboda eyeefuula abasaba obuyambi ne bamuyitako, Miiro olwava ku bodaboda n’akubira mukyala we essimu amuggulirewo olwo omutemu gye yava n’amukuba amasasi.

Yatwalibwa mu ddwaaliro lya Seeta Medical Centre ng’ataawa oluvannyuma n’afa nga yaakatuusibwayo.

OKUNOONYEREZA:

Okusinziira kw’omu ku bambega ba poliisi mu kitongole kya Flying Sqaud abanoonyereza ku musango guno ataayagadde kumwatuukiriza linnya, ebyakazuulibwa biraga nti okufa kwa Miiro kulimu abamu ku booluganda lwe era poliisi ekyetegereza amasimu agaamukubirwa. LWAKI

ABANTU BATEMULWA MU KISEERA EBY’OKWERINDA MWE BIBEEREDDE EBY’AMAANYI

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Ennanga yategeezezza nti kituufu abantu batemuddwa nnyo naye si mu kiseera kya kulonda kyokka kuba ettemu nga lino lyandiba nga likyakolebwa okutuusa ng’abantu bayize okutwala okwemulugunya kwabwe ku poliisi nga bafunye obutakkaanya.

Yagambye nti ettemu nga lino litera okuva ku bantu abaagala okutta bannaabwe olw’emirimu, ebyenfuna, abaagalana oba abafumbo nga bafunye obutakkaanya n’abaagala okutta obujulizi.

Okumalawo ettemu lino buli muntu tumuwa amagezi okutuukirira amangu poliisi nga waliwo okutiisibwatiisibwa.

OKUFA KW’OMUGAGGA W’E BUSEGA

Didas Tukundane omusuubuzi w’omu Kampala eyattibwa mu kiro ky’Olwokusatu ng’ayingira ku ggeeti mu makaage e Busega mu Kibumbiro Zooni B, baamukuba amasasi munaana.

Akulira bambega ku poliisi y’e Katwe etwala ekitundu kino, Benon Ayebare yagambye nti mukyala w’omugenzi ono Kaitesi n’abalala balabika baali mu lukwe lw’okumutta bba.

Beewuunya engeri gye yavudde mu dduuka mw’akola ne bba n’adda amangu awaka ate bwe baakubye bba amasasi yalaze obuvumu okwanguwa okumutwala mu ddwaaliro ekiriko akabuuza