Balamu be bamugoba mu maka lwa ddogo

Okutuuka okulumba Nakakande mu maka ge, kiddiridde mwannyinaabwe Luwemba okukwatibwa olumbe omusika wa nnyina n’akizuula nti luganda era nga lusibuka ku Nakakande.

 Nakakande (ku ddyo) ne mukulu we nga bafuluma awaka.

Bya JOSEPH MAKUMBI

ABEEKIKA batabukidde mulamu waabwe bamugobe mu nnyumba nga bamulumiriza nti asussizza obulogo ekyagoba muganda waabwe mu makage n’addukira ku muliraano.

Katemba ono yabadde ku kyalo Ngandu mu Munisipaali y’e Mukono.

Aboobaluganda lwa Abubaker Luwemba omukozi mu kkampuni ya Rwenzori baatabukidde mukyala waabwe, Mariam Nakakande afulume ennyumba n’abaana be bana be yazaala mu muganda waabwe.

Okutuuka okulumba Nakakande mu maka ge, kiddiridde mwannyinaabwe Luwemba okukwatibwa olumbe omusika wa nnyina n’akizuula nti luganda era nga lusibuka ku Nakakande.

Bano abaabadde bakulembeddwaamu Nagawa Ntamu ne Ediriisa Ntamu (omusika wa kitaabwe) baategeezezza nti Nakakande bulijjo ali mu lukwe lwa kutta muganda waabwe yeddize emmaali ye yonna bagirye ne muganzi we.

 

Nagawa yagambye nti kitutte ebbanga lya myezi esatu bukya mwannyina akwatibwa lumbe n’ava awaka n’addukira ku muliraano nti kyokka omwami olwali okuva awaka, Nakakande n’ayingizaawo Sheikh akuba ebitabo omutuuze w’oku kyalo Nangwa mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono gw’abadde yaganza.

Nagawa yagambye nti okumanya mulamu we mujoozi, Sheikh abadde amuyingiza nga mwami mutongole mu maka era ng’ajja n’emmotoka ye n’akuba engombe nga nnyinimu ne bamuggulira n’ayingira ne basinda omukwano nga tatidde na baanabe abakulu okumulaba!

Nakakande ne Luwemba babadde bafumbo okumala emyaka egisoba mu 18 era nga balina abaana bana okuli n’abakulu ddala kyokka Nagawa alumiriza nti, abaana ababiri, Nakakande yabawonga mu mizimu n’emisambwa egyabatabula emitwe era tebategeera bulungi.

‘Bba yamuwonga’

“Omukazi oyo aviire mwannyinaffe agende kubanga ekibalo kye ayagala kututtira muntu era nga yakyogera lunye nti yamuwonga mu mizimu gye ate nga tukimanyi bulungi ewaabwe basamize balina n’amasabo,” Mary Ntamu bwe yakomekkerezza mu maaso ga mulamu we.

Embeera eno yasitudde poliisi ekola ku nsonga z’amaka n’abaana e Mukono ne bagezaako okuzituulamu awaka kyokka ne birema ne babatwala bonna ku poliisi bazituuliremu eyo.

Nakakande olwalabye ng’aba famire balinga abaagala okumusinza amaanyi bamusuuze ennyumba n’ebyobugagga by’akoleredde ne bba, yakubidde mwanyina Lawrence Kibirige amuyambe.

Kibirige yayise mu bwangu n’atuuka mu mmotoka ye mwe yatwalidde mwannyina ku poliisi n’amutaasa ku balamu be.

Ku poliisi baasisinkanye omukwanaganya wa poliisi n’omuntu waabulijjo e Mukono, Vincent Ssande n’ababuuza ekibatta buli omu n’ayogera ekimuli ku mutima oluvannyuma ne babalagira Nakakande adde mu maka ge ne Luwemba agira adda gy’abadde asula okutuusa nga bagonjodde ensonga.

Okusinziira ku Ediriisa Ntamu, bwe bazze awaka Luwemba yayagadde okumanya oba ng’ebintu bye bye yaleka awaka bikyaliwo wabula yagenze okutuuka ng’ebimu omuli ttivi emu, omukyala yabitunda naye kwe kwagala atwale ttivi eyabadde esigaddewo wabula omukyala n’alema olutalo ne luddamu buto okutuusa poliisi lwe yakomyewo ate n’ebazzaayo buto.

Ntamu agamba nti poliisi yayagadde okuggalira Luwemba kyokka ne beegayirira n’asonyiyibwa wabula ne bamulabula obutaddamu kulumbagana mukazi okutuusa ng’ensonga zigonjoddwa era ne babalagira baddeyo ku poliisi leero (Mmande) ku ssaawa 8:00 ez’emisana.

Nakakande yagambye nti balamu be bamukonjera, obulwadde obuluma mwannyinaabwe yabuggya mu lumbe gye yagende e Luweero.

“Sirina Sheikh yenna yali azzeeko wano gwe bagamba nti gwe njagala byonna babikola kulaba nga bannemesa obufumbo,” Nakakande bwe yafundikidde.