Abayizi ba Zimwe P/S e Kyannamukaaka bonna basomera mu kibiina kimu!!

Aba ddukanya essomero lya Zimwe pulayimale e Kyannamukaaka, mu disitulikiti y’e Masaka, beekkokodde embeera embi essomero lino gye lirimu etuusizza abayizi ab’ebibiina eby’enjawulo okusomera mu kibiina kimu.

 Abayizi ab’emitendera egy’enjawulo nga batudde mu kibiina kimu.

Aba ddukanya essomero lya Zimwe pulayimale e Kyannamukaaka, mu disitulikiti y’e Masaka, beekkokodde embeera embi essomero lino gye lirimu etuusizza abayizi ab’ebibiina eby’enjawulo okusomera mu kibiina kimu.

Bagamba nti ng’oggyeeko okusomera mu kibiina ekimu, embeera ebibiina gye birimu yeeraliikiriza kuba byazimbibwa mu biwempe n’essubi. Bagamba nti essomero lino erya Gavumenti abayizi abasinga batuula ku ttaka nga tebalina bitabo mwe bawandiika.

Akulira essomero lino Muhamed Kitamirike Ssetabi, yagambye nti embeera yamutabukako kuba atuukiridde abakulira ebyenjigiriza mu Masaka enfunda eziwera kyokka tebalina kye baali bakozeewo.

Yagambye nti lino lye ssomero lya Gavumenti lyokka eriri mu kitundu kino nga lirina abaana bangi kyokka ’embeera gye basomeramu yeeraliikiriza.

Kitamirike yagambye nti enkuba bw’etonnya abayizi batoba ate omusana bwe gwaka gwonna gubaggweerako.

N’asaba abakulira ebyenjigiriza okuyamba essomero lino kuba embeera gye balimu mbi. Abazadde nabo beegasse ku mukulu w’essomero ne basaba Gavumenti okubayamba.