'Eyatta bba abuzizzaawo omwana'

OMUSANGO gw’omukazi Joan Najjuma agambibwa okufumita bba ekiso ku mutima n’afa, gutandika okuwulirwa nga October 18 omwaaka guno.

 Najjuma nga yeebisse bwe yabadde ava mu kkooti e Nabweru eggulo.

Bya DEO GANNYANA

OMUSANGO gw’omukazi Joan Najjuma agambibwa okufumita bba ekiso ku mutima n’afa, gutandika okuwulirwa nga October 18 omwaaka guno.

Eggulo Najjuma (alina olubuto olukulu), ow’e Lugoba, yaleeteddwa mu maaso g’omulamuzi Edith Mary Mbabazi mu kkooti e Nabweru n’addamu okumusomera omusango gw’okutta bba Hannington Musaasizi, bwe yamufumita ekiso nga August 24 omwaka guno oluvannyuma n’afa nga wayise ennaku bbiri.

Kigambibwa nti entabwe yava ku Najjuma kusanga bba ng’asinda omukwano ne yaaya awaka. Wabula eb’oluganda lw’omugenzi Musaasizi nga bakulembeddwaamu kitaawe, Jackson Tinkamanyire, basabye aboobuyinza bakwate omusango guno n’amaanyi era balumiriza nti Najjuma yabuzizzaawo omwana waabwe (owa Najjuma ne Musaasizi) eyali awaka ng’obutemu buno bubaawo.

Tinkamanyire yategeezezza eggulo ku kkooti nti Najjuma okubuzaawo omwana omuwala ow’emyaka ena, Poliisi gw’enoonya, kimu ku kiraga nti agezaako okukweka obujulizi.

Omwana ono agambibwa okubuzibwawo era kati tamanyiddwa gy’ali kyokka nga y’omu ku bretaagibwa okuwa obujulizi. Tinkamanyire yasabye Poliisi ne kkooti bongere okukunya omukyala ono ayogere omwana gy’ali.

Omulamuzi Mbabazi yategeezezza nga Najjuma bwe yazza omusango omunene ogwa nnaggomola nga takkirizibwa na kwewozaako mu kkooti eno ento, bw’atyo n’assaawo olwa October 18, 2016 lw’anaasalawo oba omuwawaabirwa atwalibwa mu Kkooti Enkulu esingako era ekkirizibwa okuwulira emisango gy’ekika kino.

Nga Musaasizi yaakafumitibwa, Poliisi y’e Kawempe yakwata mukyala we Najjuma wabula n’emuyimbula kyokka bwe yafa, n’eddamu n’emukwata n’emuggulako n’omusango gw’obutemu oluvannyuma lw’ehhanda z’omugenzi n’ab’oku kyalo okumulumiriza.