Omujaasi amanye amayumba g'abatuuze e Ziroobwe

ABATUUZE ku kyalo Kasokoso mu ggombolola y’e Ziroobwe mu disitulikiti y’e Luweero basula bweru oluvannyuma lw’omujaasi wa UPDF okubamenyera amayumba ng’agamba nti ye nnannyini ttaka kwe bali.

 Abamu ku batuuze be bamenyedde amayumba.

Bya JOSEPH MAKUMBI

ABATUUZE ku kyalo Kasokoso mu ggombolola y’e Ziroobwe mu disitulikiti y’e Luweero basula bweru oluvannyuma lw’omujaasi wa UPDF okubamenyera amayumba ng’agamba nti ye nnannyini ttaka kwe bali.

Lt. Col. Stephen Karasani akolera ku Junior Staff College e Jinja, kigambibwa nti abasajja be nga baambadde obukookoolo nga bakutte n’emmundu be baakoonye ennyumba z’abatuuze. Haruna Ssenkaayi omu ku batuuze be baakoonedde ennyumba yategeezezza nti, ku kyalo omujaasi abagobaganya ku ttaka bamumanyi nga Stephen Kagolo Karasani wabula mu magye bamumanyi nga Stephen Karasani n’agamba nti mutabani wa Wilson Karasani eyalina ekibanja ku ttaka.

Yagasseeko nti, waliwo ekibanja kye yagula ku Masitula Nakiwala ekiri ku Block 56 poloti 63 wabula Karasani n’akyesibako era omusango gubadde mu kkooti okumala ebbanga okutuusa omulamuzi wa kkooti y’e Ziroobwe, Charles Sserubuga lwe yasaze omusango n’agamba nti ekibanja kya Karasani era n’alagira bawannyondo ba kkooti bagobe abantu bano abakiriko.

Wabula bwe baagenze okumenya, baamenye mayumba agali mu poloti ndala.

Baamenye amayumba ku poloti 71 ne 72 awatali nkaayana Okusinziira ku kiragiro ekyaweereddwa kkooti baalagiddwa okumenya ebintu byonna ebiri ku Block 57 poloti 63 abatuuze kye bagamba nti baamenye wakyamu ng’amayumba gaabwe tegali mu kifo ekyalagiddwa.