Ekyuma kya ssukaali kimutemyeko omukono

EKYUMA mu kkolero lya ssukaali erya Kamuli Sugar Limited kitemyeko omukozi omukono ne kigukutulako nga kati apoocera mu ddwaaliro.

 Kemba mu ddwaaliro

Bya DONALD KIIRYA

EKYUMA mu kkolero lya ssukaali erya Kamuli Sugar Limited kitemyeko omukozi omukono ne kigukutulako nga kati apoocera mu ddwaaliro.

Latif Kemba, 21, omutuuze w’e Namayira-Kiroba mu ggombolola y’e Kitayundwa mu disitulikiti y’e Kamuli ekyuma gwe kyatemyeko omukono ogwa ddyo mu kiro ekyakeesezza Mmande.

Rajab Kemba kitaawe wa Latif yasangiddwa mu ddwaaliro lya KYM Nile Hospital Uganda e Walukuba mu kibuga Jinja yategeezezza nti banne ba Latif be baamukubidde nti yabadde afunye akabenje.

Yannyonnyodde nti ekyuma kwe batambuliza evvu eriva mu bikuta ebyokeddwa nga bimaze okukamulibwamu ssukaali kye kyamusaze bwe yabadde akikolako.

Kemba yagenze ku poliisi ye Kamuli n’agitegeeza ku kabenje akaabaddewo era ng’ayagala abakulira ekkolero lino okujjanjaba n’okuliyirira mutabani we.

Omusango guli ku fayiro SD: 01/11/2016. Latif Kemba abadde yaakakolera emyezi 5.