Mutaawe bba wa Sharitah tamatidde na nsala ya kkooti

EYALI bba wa Sharitah Mutaawe, Richard Kiwanuka Mutaawe ayolekedde okusibwa singa alemererwa okusasula 550,000/- ezaamusaliddwa kkooti buli wiiki.

 Sharitah

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

EYALI bba wa Sharitah Mutaawe, Richard Kiwanuka Mutaawe ayolekedde okusibwa singa alemererwa okusasula 550,000/- ezaamusaliddwa kkooti buli wiiki.

Kkooti ento e Nakawa yalagidde Mutaawe awe Sharita omukozi wa pulogulaamu ya Kasendabazaana ku leediyo ya Super FM n’okwanjula n’embaga ku TV ya Delta, 550,000/- buli wiiki alabirire abaana okubajjanjaba, okubaliisa n’ebirala abantu ze baayogeddeko ng’enyingi.

Ku ssente ezo kuliko 50,000/- za bumpwakimpwanci nga kkooti yagasseeko n’okumuwa ennyumba yaabwe ey’amaka e Kyanja n’ettaka.

Bangi bagamba nti ssente ezo nnyingi okusinziira ku maka bwe gaddukanyizibwa ensangi zino bw’ogattako n’ebyenfuna y’ennaku zino nga bwe biri.

Mutaawe

 

EKITONGOLE EKIRAMUZI KITANGAAZIZZA

Singa Mutaawe anaalemwa okuwa Sharitah ssente ezaamusaliddwa, asobola okusibwa emyezi mukaaga, oba okutunda ebintu by’alina ssente ezo zifunibwe, oba byombi.

Okusinziira ku Erias Kisawuzi nga ye mwogezi w’ekitongole ekiramuzi, etteeka liragira omuntu alemeddwa okusasula ssente ezimusaliddwa kkooti okulabirira abaana be, ebintu bye okuboyebwa ne bikozesebwa oba okutundibwa okufuna ssente ezirabirira abaana.

Ne bw’alemwa mu ngeri yonna, akwatibwa n’asibwa emyezi mukaaga bw’ovaayo n’asala amagezi bw’asasula.

Kyokka era amateeka galina enkola nti, bw’oba tosobole kusasula, osobola okusaba okuddamu okuwulira ensala ya kkooti n’olaga ky’onoosobola ne bakukyusizaamu omulamuzi singa aba akirabye nga kyetaagisizza okukyusa.

Awo obeera ogenze mu kkooti esingako n’olaga obutali bwenkanya mu ssente ezo kyokka oyinza n’okuddayo mu eyo yennyini.

Kisawuzi bwe yabuuziddwa oba abakyala tebaafune ekinyegenyege ky’okwagala okwawukana n’abasajja bafunireko ssente enyingi yazzeemu nti; Kino si lwe kisoose, ate sikisuubira kubanga bulijjo bibaayo mu kkooti ne basala ssente abantu ne basirika, ndowooza lwakuba kino kiwaawadde olw’okubeeramu abantu abamanyiddwa.

 

 

Yabuuziddwa kkooti gy’egya obuyinza okugattulula n’addamu nti: Mateeka ga nsi okugattulula kubanga amateeka g’ensi gasinga aga bannaddiini ne bwe bagatta era kkooti eyinza okusalawo baawukane.

BALOOYA BALABUDDE ABAKAZI;

Jude Nyanzi owa kkampuni ya Lutaakome and Co. Advocates ku Ntebe road agamba nti; Okusala ssente zino kisinziira mu kiti ky’omuntu n’enneeyisa mwe babadde nga tebannayawukana.

Ng’oggyeko ssente ze mubadde mukozesanga awaka, waliwo abantu abamu abalina ebintu ebivaamu ssente ennyingi ne basalawo nti ebintu ebyo babikoleko omugabo (percentage) ne basalawo katugambe nti, ku ebyo byonna omukyala atwalengako ebitundu 10 ku 100 buli wiiki.


Kino kiyinza okumuviiramu ssente nnyingi n’okusinga ezo ezaasaliddwa Mutaawe.
 

Balooya abalala baawadde abasajja amagezi nti bwe basanganga abakyala abaagala okwawukana nabo bagabane ebintu, basookenga babagumiikirize naye nga buli omu abeera yekka, engeri abakyala abamu gye batalina bugumiikiriza, bw’afunayo omusajja omulala n’oleeta obujulizi obwo, kitegeeza tayinza kumala gagabana ssente nnyingi kubanga yabaligira mu bufumbo ate ekirala, alina omusajja ayinza okumuyamba.

Nti ekyo kiri nga namwandu bw’ayinza okuwaaba nti, ab’enganda z’omusajja bamututteko ebintu bya bba n’olwekyo talina buyambi so ng’alinayo omusajja omulala amussaamu ssente era ab’enganda we baleetera obujulizi obwo, ensonga ya namwandu ekendeera kuba aba ng’atakyali namwandu.

 

MUNNADDIINI AYOGEDDE:

Dr. Pr. Simeon Kayiwa

Obufumbo bulimu ebiti bibiri ebyegatta ne bibaawo, waliwo ekya Katonda n’ekitundu eky’ensi. Eyo y’ensonga eriwo kati ng’abo abaagattibwa mu kkanisa ate ne bagenda mu kkooti n’ebagattulula mu mateeka g’ensi.

Ekyakoleddwa ku abo kiyitibwa ‘Order of Decree nissi’ ekitegeeza nti kkooti yabakkirizza okwawukana kyokka nga bakyali bafumbo era bwe wanaayitawo emyezi nga mukaaga, bajja kuddayo mu kkooti bafune ekiragiro ekya ‘Decree absolute’ ekibaawulira ddala.

Awo omwami aba talina kuwa mukyala ssente yonna okugyako ez’abaana kyokka baba balina okugabana ebintu byabwe byonna.

Sharitah ne Mutaawe baabadde mu kkooti ento e Nakawa era omusango gw’engabana y’ebintu gye gwasaliddwa.

Sharitah ne bba baayawukana gye buvuddeko era omusango gw’okugattululwa nagwo guli mu kkooti y’emu. Baagattibwa 27 August 2011 nga bamaze okwanjula mu 2010 nga balina omwana omu kati balina babiri era ssente ezo zaawereddwa Sharitah okubalabirira omuli okubajjanjaba, okubaliisa n’ebirala.

AKYUSIZZA ERINNYA;

Sharita w’owulirira bino n’erinnya lye ku Facebook yalikyusizza kati yeeyita Sharitah Mazzi Mawanvu okukakasa nti ebya Mutaawe bikadde.

MUTAAWE AGAMBAKI;

BukeddeOnline yatuukiridde Mutaawe okubaako ky’ayogera ku ssente ezo oba anaazisobola n’enteekateekaze endala oba wa kujulira n’addamu mu bukambwe nti; ‘Nvaako sirina bigambo ate ensonga ezo sijja kuziteesezaako mu mawulire.’