Bakoze effujjo ne bagoba bannaddiini ku ntaana

Bakoze effujjo ne bagoba bannaddiini ku ntaana

 Abavubuka nga bakungubagira munnaabwe

Bya Noah Jjagwe

Abavubuka abenjawulo omuli abavuzi ba ddigi ezimanyiddwa nga kkunama ssaako ne bannaabwe ab'ekibiina ekimanyiddwa nga "kambodiya" ekisangibwa mu bitundu bye Sseguku ku luguudo lwe Entebbe bakoze effujjo mu kuziika munnaabwe amanyidwa nga Fred Lutwama ku bijja byaba jjaja be  e Sentema mu district ye Wakiso.

Omugenzi Lutwama abadde makanika wa pikipiki ennene e Zana ku luguudo lwe Entebbe okumpi n'akatale era nga abadde mutuuze we Lubowa.


Bano batuuse no kutwala ddigi zino ku ntaana  ne bazikumamu omuliro ne boggolera waggulu   bwe baleekanira waggulu nti "kyekyo ssebo yongeramu" ng'abalala bwe bavuma katonda olwokutwala mukwano gwabwe.
"Katonda oli wa mbwa nnyo ,twala eri oba ontwala nange ntwala ssitidde," Wabula bano abamu babadde bamaze okwesiwa amagengere.

Wabula basoose kulaliika ababadewo nti tugenda kukuba emizinga esatu okuwerekera munaffe ono.

Era olwamaze ekyo olwo pikipiki eza kunnama ne zitandika okukubwa emyaasi nga bwe baleekaanira wagulu.Olwo nga entaana yonna y'ebulunguluddwa abavubuka okuva lwe yasimiddwa okutuusa lwe baleese omuffu bbo benyini.

Olwavude awo ne beefuga entaana era ne bagobako bannaddiini nti bagende ku banga babade bamaze okusabira omugenzi nga kati kano kabade kaseera kaabwe.Ababuliizi balabidwako nga bebulungula okusegulira ebyeteere.

Obutafaanako nga kuziika kulala tewebade ku buulira bantu ku ntaana wamu okwanjula obubaka obusaasira enju yo mugenzi ssaako n'okusoma amabugo.Era omugenzi teyayogeddwa ko byafaayo wamu ne jenvude we.
 
Okuziika olwaweede nebolekera olwe Kampala wabula nga bulyoomu yalekedwa asamaliride olwabulu kika kya piki ekyabade mu ziika ngoyinza okulowooza z anti kwabade kwolesa pikipiki.