Pulezidenti Museveni akolokose abakulira ekibuga Masaka

Pulezidenti Museveni akolokose abakulira ekibuga Masaka

 Pulezidenti Museveni nga bamulambuza akatale k’omu Nyendo.

PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni azzeemu okwegaana nga bw’atamanyi bakulembeze abaalondebwa mu kibuga Masaka n’ategeeza nti ssinga yali abamanyi ebizibu bya Masaka okuli enguudo embi n’ebirala ssinga baabimugamba dda naye byonna abitegeera azze ku mikolo mirala e Masaka. Okwogera bino yabadde aggulawo akatale ka Nnyendo Market ku Lwokutaano akaazimbiddwa Gavumenti okuva mu nsimbi ze yeewola okuva mu Bbanka y’ensi yonna.

Kaamazeewo obuwumbi 11 nga kaakukoleramu abasuubuzi abasukka mu 2,000. Omubaka Mpuuga yasiimye Gavumenti okuzimba akatale kano n’ategeeza nti kajja kuyamba abantu bangi kyokka n’aloopera Pulezidenti Museveni nga bwe waliwo abaatunda ekitundu ku ttaka ly’akatale kano n’asuubiza okukulembera olutalo lw’okulinunula mu bwangu.

Yayongeddeko nti ekizibu ekiremesezza Masaka okukula kwe kuggalawo kw’ebibiina by’obwegassi n’amakolera okuli n’ekyuma ekyali kikola sooda e Bya LUKE KAGIRI BANNADDIINI, bannabyabufuzi, abasuubuzi n’abakungu mu Bwakabaka bwa Buganda bakungubagidde omugagga Enock Kato ‘Zigoti’.

Omulambo gwatuukidde mu kitiibwa e Mityana ng’abantu bakwatiridde ku nguudo okumukubako eriiso evvannyuma. Baasoose kugwetoolooza kibuga Mityana, Kato mw’abadde alina bizinensi ez’enjawulo ng’abakozi be bangi baalindidde ku bizinensi za mukama waabwe.

Omulabirizi wa Mityana, Dr. Samuel Kazimba Mugalu yagambye nti Kato abadde musajja mwesimbu nga by’asuubiza abituukiriza olw’enkola ye ey’okusasulirawo ensimbi mu buliwo buli lw’aba yeetabye ku mikolo egy’okusonda ssente.

Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki yagambye nti ng’oggyeeko ebifo Kato by’aweerezzaamu okuli ekya Minisita wa Kabaka n’omukiise mu Lukiiko lwa Buganda, abadde ayagala nnyo Kabaka ng’ajjumbira n’emirimu gy’Obwakabaka Kyabakuza n’asaba Gavumenti okuddamu okubizuukusa abantu bafune emirimu.

Pulezidenti yasuubizza okukola ku bizibu byabwe babazimbire n’akatale akalala mu Masaka wamu n’okukola enguudo kyokka n’abategeeza nti ebintu bya Gavumenti bitambulira mu mitendera. Museveni yalambudde akatale n’abasuubuzi abaatandise okukolera mu katale kano n’abakubiriza okukola ennyo okwekulaakulanya n’okwegobako obwavu.

Yatuuse ku mukolo ku ssaawa 11:00 ez’akawungeezi n’ayanirizibwa Minisita Tom Butime, Haruna Kasolo, Meeya Kayemba Afaayo, Omubaka Matthias Mpuuga, Ssentebe Jude Mbabaali, Muyanja Mbabaali, Mary Babirye Kabanda n’ababala. n’abalala bangi.

Ye ssentebe wa Nnyendo, Ssenyange Micheal Mulindwa yennyamidde olw’abantu ababba ettaka ly’akatale n’ategeeza nti bakola kyonna ekisoboka okuwaliriza abakulira ekibuga Masaka okuddiza abaagula ettaka lino ssente zaabwe bagende mu maaso n’okulikulaakulanya.