Kayihura azzeemu okukola enkyukakyuka mu poliisi

Kayihura azzeemu okukola enkyukakyuka mu poliisi

 Gen. Kayihura

OMUDUUMUZI wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura akoze ekyukakyuka mu poliisi mw’akyusirizza abaserikale 21 n’abaggya mu ofiisi ze babaddemu n’abatuma mu bitundu ebirala ate n’abalagira okugenda gy’abatumye bunnambiro.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa poliisi nga December 8, 2016 nga kiriko omukono gw’akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu mu poliisi, Hajji Moses Balimwoyo, abaserikale 21 baakyusiddwa.

Abamu baggyiddwa mu bitongole mwe babadde bakolera ne batwalibwa mu bitongole ebirala ate abalala ne baggyibwa mu ofiisi ze babaddemu ne batumibwa emirimu emirala. Mu nkyukakyuka zino, abaserikale abamu babadde baakamala mu ofiisi ebbanga ttono nga mu bano kuliko ASP Ronald Mugabi abadde yaakamala emyezi 2 nga y’akulira CPS eyatwaliddwa okukulira poliisi y’e Mubende.

Mu balala abakyusiddwa kuliko SP George Kamonde eyaggyiddwa ku kitebe kya ICT n’atwalibwa e Masaka (Greater Masaka) okuvunaanyizibwa ku mbeera y’abaserikale n’enzirukanya y’emirimu, D/SP Taban Chriga abadde akulira bambega e Mbarara yatwaliddwa ku kitebe ky’ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli nga ofiisi yalagiddwa okugikwasa omumyuka we.

ASP Israel Wambesyo yafuuliddwa amyuka akulira poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano, ASP Sam Kaacu yaggyiddwa mu kitundu kya Wamapa n’atwaliba ku kitebe kya poliisi mu Kampala n’emiriraano, ASP Hadija Ndikuye yaggyiddwa e Kasangati n’atwalibwa e Kakiri okukulira poliisi y’ebidduka, ASP Shalifa Naigaga yatwaliddwa Pallisa okukulira poliisi y’ebidduka.

ASP Steven Sande yaggyiddwa ku poliisi ya Kira Road n’atwalibwa mu kitundu kya Wamala okukulira poliisi y’ebidduka, ASP Erisen Twinamasiku yaggyiddwa mu poliisi ekkakkanya obujagalalo n’atwalibwa mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kugula ebintu bya poliisi, ASP Robert Omara yaggyiddwa ku kitebe kya Kampala n’emiriraano n’atwalibwa ku poliisi e Kamuli ng’agikulira, ASP Fred Ayikoua yatwaliddwa e Kaliro ng’agikulira.

ASP Kassimu Ziryawulawo Matovu eyali OC w’e Nansana ng’abadde anoonyerezebwako ekitongole ekikwasisa empisa (PSU) yatwaliddwa e Lwengo ng’agikulira, D/ ASP Spohia Matovu abadde amyuka akulira bambega ku CPS yavudde mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango n’atwalibwa mu poliisi ekuuma obutonde nga yeegattiddwaako ASP Ivan Mukhone ne ASP January Kusiima.

D/ASP Ivan Abok yaggyiddwa mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango n’atwalibwa e Buyende akulire poliisi e Kidera, ASP Denis Angor yatwaliddwa okukulira poliisi y’e Bukungu – Buyende. ASP Shaffic Kasujja yaggyiddwa ku poliisi ya Kampalamukadde n’atwalibwa Nakasongola okukulira poliisi y’e Katuugo.

ASP Assy Mukundane yaggyiddwa e Lwengo n’asindikibwa e Luuka ng’akulira poliisi yaayo, ASP Moses Muhanguzi yaggyiddwa e Rukungiri n’asindikibwa e Kabale ng’akulira poliisi, ate ASP Joyce Achiro yaggyiddwa e Kween n’atwalibwa mu kitundu kya North West Nile okukulira poliisi yaayo.