Lukululana ekoonye enju mu kiro nga famire yeebase

Lukululana nnamba UAD 379Q ebadde etisse ebyuma ng’ebiggya Rwanda ebitwala Kampala y’ewabye n’eyingirira ennyumba ya Steven Ssegirinya omutuuze ku Bikondo e Mpigi.

 Abaserikale nga bekkaanya enju eyakooneddwa e Mpigi ku Bikondo

Bya PADDY BUKENYA

LUKULULANA ebadde eva e Rwanda eremeredde omugoba waayo n’eyingirira ennyumba e Mpigi okukkakkana ng’esse omwana omu, abalala mukaaga ne baddusibwa mu ddwaaliro nga bataawa.

Lukululana nnamba UAD 379Q ebadde etisse ebyuma ng’ebiggya Rwanda ebitwala Kampala y’ewabye n’eyingirira ennyumba ya Steven Ssegirinya omutuuze ku Bikondo e Mpigi.

Afudde ye Shatrah Nansubuga, 4 muwala wa Patrick Mutatwala ate baganda be okuli; Brandon, 10 ne Mercy Nanjala, 12 baddusiddwa mu ddwaaliro lya gavumenti e Mpigi nga bataawa.

Maama w’abaana bano, Hasifah Nakiganda ne kondakita w’emmotoka eyakoze akabenje, Domolo Gasimbaye enzaalwa y’e Rwanda nabo baddusiddwa mu ddwaaliro lya Double Cure e Kalagala - Mpigi nga bafunye ebisago eby’amaanyi.

Nakiganda mu ddwaaliro lya Double Cure e Mpigi.

 

Akabenje kano kaaguddewo ku ssaawa nga 8.00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwokubiri era tekannategeerekeka kwe kaavudde.

Ddereeva wa lukululana yadduse. Poliisi y’ebidduka e Mpigi yatuuse mu kifo kino n’enoonya mu mafunfugu okulaba oba galimu abantu abalala abaabuliddemu.

Abatuuze baakitadde ku baddereeva b’ebimotoka ebinene abakozesa ebitamiiza nga enjaga.

Baasabye poliisi ebateekeko amaanyi okutangira obubenje bwa mmotoka ennene ezisusse okuyingirira amayumba ku lw’e Masaka.