Lukwago ayambalidde Mao: 'Lekulira kuba ekibiina kikulemye okuddukanya'

Loodi meeya Erias Lukwago awadde Ssenkaggale wa DP, Nobert Mao amagezi ayite bannakibiina kya DP bonna, omuli abakulembeze wamu n'abakadde b'ekibiina okuteesa ku mbeera y'ekibiina gy'agamba nti etiisa mu kaseera kano.

 Mao ne Lukwago

Bya Ashraf Kasirye
 
Lukwago agamba nti Mao alina okukkiriza nti ekibiina kimusobyeko kubanga abakulembeze baakyo abasinga ababadde abaamaanyi bagenze basendebwasendebwa okudda mu NRM ne baweebwa agafo mu gavumenti.
 
Lukwago bino abyogeredde mu lukung'aana lwa bannamawuilire lw'atuuzizza ku City Hall mu Kampala n'agamba nti ebigenda mu maaso byonna biva ku bunafu bwa Mao n'engeri gy'akwatamu ebintu okukira nnakyemalira.
 
"Bwekiba kyetaagisa ave ne ku bukulembeze kubanga ekibiina kimulemye okuddukanya,"
 
Lukwago era ategeezezza nti kati yeggyeerezedde ku misango egizze gimuggulwako nga bamuyita kyewaggula mu kibiina, n'agamba nti ensonga zonna ze yawa zitandise okweyoleka mu maaso ga Bannayuganda.