Ayagala Basajjabalaba amuliyirire obukadde 256

Basajjabalaba awawaabiddwa wamu ne yunivasite ya Kampala International University (KIU).

Omusuubuzi Basajjabalaba eyawawaabiddwa wamu ne yunivasite ya KIU

OMUSUBUUZI Hassan Basajjabalaba bamukubye mu mbuga z'amateeka lwa bbanja lya bukadde 256.

Mathias Tumwesigye, y'atutte Basajjabalaba mu mbuga agamba nti nga April 15, 2015 yaweebwa omulimu nga ssentebe w’ettendekero ly’ebyekisawo ku yunivasite ya KIU ku kontulakiti ya myaka ena, ng’eno yali esobola okuzzibwa obuggya okusinziira ku ngeri gy'akola emirimu oba ematiza nga yali waakufuna obukadde 8 buli mwezi.

Tumwesigye agamba nti emirimu gye yagikolanga bulungi nga ne liivu gye yalina okufuna buli mwaka oba okusasulwamu singa abeera akoze  teyagitwala wabula okutuusa nga September 30, 2016 lwe yafuna ebbaluwa eyali emuyimiriza ku mulimu embagirawo  eno nga yamusanga wakati mu ssomo ng’aliko abayizi basomesa nga tasoose na kutegeezebwako ku nsonga yonna.

Agamba nti okugobwa ku mulimu kyali kitegeeza kumenya ndagaano eyamuweebwa ng'esiddwaako n'omukono mu April wa 2015.

Ayongerako nti kino kyamukosa mu birowoozo n’embeera ze ez’obuntu saako okufiirizibwa ennyingiza ye.

Kati ayagala Basajjabalaba ne yunivasite ya KIU bamuliyirire obukade 289 okusasulira ebyo byonna bye yayitamu nga kuliko obukadde 256 ng’omusaala  gwe ogw’emyezi 32 egyali gisigadde ku kontulakiti ye, omusala gwa September, ensako y’okukozesa essimu ‘airtime’ mu bbanga eryali lisigaddeyo ery’emyezi 32 ng'eno  eweza obukadde 25 n’emitwalo 60.

Mu kwewozaako, Basajjabalaba ne KIU beeganyi ebyogerwa Tumwesigye wabula ne bakkirizaako ebimu nga eky’okubeera omukozi wa yunivasite okumala ebbanga lya myaka ena.