Nantaba nvaako -Kayihura

Nantaba nvaako -Kayihura

Gen. Kayihura agambye Nantabe amwesonyiwe oluvannyuma lwa Nantaba okumulumiriza okumusindikira abasirikale okumutulugunya ku nsonga z'ettaka

MINISITA omubeezi owa tekinologiya, Aidah Nantaba alumirizza omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura nti amutambulirako era ali mu kutya olw’engeri abaserikale abakulemberwa Kayihura gye bamubuzizzaako emirembe.

Yagambye nti ensonga zino yazituusa ewa Pulezidenti era alinze ekinaavaayo. Nantaba agamba nti akimanyi bulungi nti Kayihura amuli bukiika nti era embiranye yatandikira ku ttaka ly’e Kayunga gy’agamba nti Kayihura yeegatta ku kikoosi ky’abagagga abasengula abantu nga bakulemberwa Moses Karangwa.

Yalumbye Kayihura nti alemeddwa okutereeza poliisi n’emivuyo egirimu ne batuuka n’okumuloopera ba ofiisa abakoze ebikolobero n’atabaako ky’akolawo.

Yawadde ekyokulabirako nti nga October 26, 2015 ku ssaawa 4:00 ez’ekiro DPC w’e Kayunga yaduumira abaserikale bajje bamutuuseeko obulabe Katonda n’azza bibye, kyokka Kayihura talina kye yakola ku muserikale we oyo. “Baakuba amasasi mu bawagizi bange, ne bankuba ttiyagaasi ne kaamulali.

Baali banzise ne ntwalibwa mu ddwaaliro e Nairobi ne mu Amerika. Naloopa mu kitongole ekikwasisa empisa ekya Professional Standards Unit (PSU) ne bakola ne lipoota naye tewali kyamukolebwako.

Era mu ku kunkolako effujjo, yakyogera enfunda eziwera nti atumiddwa mukamaawe”. Bwatyo Minisita Nantaba bwe yategeezezza mu mboozi ey’akafubo ne Bukedde.

Nantaba ng'alopeera Pulezidenti Museveni ensonga z'ettaka

 

Gen. Kayihura amwanukudde: “Simanyidde ddala mukyala ono ky’anjagaza.

Ebyo by’agamba nti mmulondoola kumutusaako bulabe abiggya wa?

Kati mutuseeko obulabe nkifunemu ki?

Naye ddala Nantaba namukola ki?

Mpulira agenda atuuza enkiiko ng’anjogerako nti mmulondoola, kati yatuuse n’okundoopa!

Nti nze ndi emabega wa minisita Namuganza ow’ettaka gwe babadde bayomba naye ebiseera ebyo!” Naye lwaki omukyala ono ampaayiriza?

Bw’aba alina entalo ne Karangwa nga bakaayanira ettaka, ate nze binkwatirako wa?

Sirina ttaka Kayunga era sirina ntegeka zisengulayo bantu yadde okubaako gwe mpagira mu basengula ab’ebibanja.

Nze ekyantwala e Kayunga nga bakaayanira ettaka, kwali kuzzaayo butebenkevu nga Poliisi.

Era ekyo nakikolera ddala ne Pulezidenti akimanyi. Kati bw’aba anninako obuzibu obulala, abwanjule mu mitendera emituufu nga minisita alina obuvunaanyizibwa.

Asobola n’okuyita mu minisita w’ensonga z’omunda avunaanyizibwa ku Poliisi ne tubyogerako. Ekyo bw’aba takisobodde, akuyite ggwe (owaamawulire) nange nga wendi ayogere ekimuluma bwe mba nkisobola nkigonjoole.

Naye akomye okwonoona erinnya lyange, sisobola kumulondoola yadde okumusindikira abajaasi. Mu kiseera kino ndi ku muyiggo gw’abasse munnaffe AIGP Felix Kaweesi ate ng’aziza mw’ebyo?

Nantaba anveeko. Kyokka akimanye nti yadde amaze ebbanga ng’anjogerera amafuukuule, nze nkyamuwa ekitiibwa!” Nantaba yayogedde ne ku nsonga endala: Olutalo lwe ne minisita eyadda mu kifo eky’omubeezi w’ensonga z’ettaka: Oyo minisita Namuganza aliko abamusindika okunsoomooza naye tajja kunsobola.

Nantaba ng'ensonga z'ettaka zimuwuuba

 

By’ayingiramu eby’ettaka ly’e Kayunga tabimanyi. Nze ndi mubaka w’abantu b’e Kayunga era nze mboogerera.

Namuganza tayinza kuva eri kuba minisita wa ttaka n’atandika okuwagira abasengula abatuuze ne babundabunda nze ne nsirika. Eky’okuba nga sikyali minisita w’ettaka tezinzigyako bbeetu kwogerera bantu be nkiikirira ng’omubaka wa Palamenti.

Noolwekyo, Namuganza akole ebimukwatako naye eky’okujja e Kayunga akiggye mu by’alina okukolako.

By’azudde ku babbi b’ettaka n’engeri ze balibbamu: Ebimu ku biri mu lipoota gye nakola ne mpeereza Pulezidenti, y’engeri abantu gye babundabunda mu nsi yaabwe nga basengulwa ku ttaka, obwavu okweyongera mu maka kuba bannannyini ttaka tebakkiriza basenze kulima mmere ya buwangaazi ku ttaka, tebabakkiriza kulima mmwaanyi, abamu n’emmere ennyangungu ng’ebinjanjaalo, kasooli, ebinyeebwa, lumonde n’ebirala tebabirima kuba babatiisatiisa buli lunaku okubagoba.

Embeera eno ereese obwavu, obutasoma n’okubonaabona mu bitundu bino era abantu basobeddwa. Lipoota erimu n’amannya g’abanene mu Gavumenti, poliisi n’amagye ababbi b’ettaka nga beeyambisa bitongole bya Gavumenti.

Mulimu n’engeri gye babbamu ettaka nga balangirira nti gundi yafa ng’ate mulamu ne bakyusa obwannannyini. Eky’ennaku, abalina okuteesa ku lipoota ku bubbi bw’ettaka n’okusalawo eky’okukola beebo bennyini b’erumiriza okubba ettaka n’okusengula abantu!

Lipoota eyo baakagiggya ku lukalala lw’ebiteesebwako (Agenda) mu kabineti emirundi etaano. Akakiiko akanoonyereza ku by’ettaka Pulezidenti ke yataddewo akalowoozaako ki?

Ababbi b’ettaka bamanyiddwa kyokka batono lwakuba balina amaanyi mangi n’emmundu ate bakuumibwa butiribiri. Nze be nazuula n’akakiiko be kagenda okuzuula. Ekikulu kanaabakolako ki?

Olutalo lw’okulwanyisa ababbi b’ettaka luzibu era bwe baba tebeenywezezza babiveeko. Beetegekere okuvumibwa, okujolongebwa, okulumbibwa n’okutiisibwatiisibwa kyokka basobola n’okuttibwa.

Ku kya Buganda Land Board n’abasenze mu Buganda Abasengula abantu nga bagula yiika ne yiika z’ettaka balangira ku leediyo ya Buganda.

Abeebibanja ababonaabona n’okusengulwa basinga mu Buganda wano. Siwulirangako mukulembeze mu Buganda yadde Katikkiro ng’avumirira ekikolwa kino ekityoboola abantu ne babundabunda mu nsi yaabwe.

Buganda Land Board eyandikulembeddemu okutereeza kino ate nayo yeenyigiddemu mu kimugunyu. Ddala Uganda esobola okugonjoola ensonga y’ettaka?

Kizibu. Abeenyigidde mu kubba n’okusengula abantu, bajaasi n’abagagga. Bano gavumenti kw’esibidde olukoba mu nsonga z’ebyokwerinda n’obutebenkevu. Bw’ebasitukiramu basobola okugitaataaganya n’efuna obuzibu. Kati Gavumenti eri ku kattu.