Ababbye ebyuma ebikola enguudo Poliisi ebibasuuzizza

Ebabbye ebyuma ebikola enguudo Poliisi ebibasuuzizza

 Abakwatiddwa nga bali ku poliisi y'omu Lubigi

POLIISI ya Lubigi mu Nansana ekutte n'eggalira abasajja bataano b'ekutte n’ebyuma ebikola oluguudo lwa Northern Bypass mu kiro ekikeesezza olwaleero.

Ababbi bano bakwatiddwa ku ssaawa mwenda ogw’ekiro mu kifo kampuni ya Motel Engil weetereka ebyuma by'ekozesa mu kukola oluguudo mu bitundu bya Namugoona ne Masanafu nga bano beekobaanye n'abamu ku bakuumi abakuuma ekifo kino abakola ne kampuni ya G4S.

Bano okukwatibwa kiddiridde omu ku bakuumi nga ye Joseph Opio okwetegereza ennyo abantu ababadde ne mmotoka ekika kya Townace nnamba UAW O62X ne boda boda nnamba UDS 728L nga bateeka emitayimbwa ku mmotoka wabula nga bakikola mu bubba era wano weyatemerezza ku poliisi ya Lubigi okusobola okutaasa embeera.

 

Poliisi ya Lubigi ng’ekulembeddwamu  ASP Godfrey Manirakiza,asitukiddemu ne basajja be batuuka mu kifo kino  okulaba embeera era wano weyakwatidde abasajja bataano abaabadde batikka emitayimbwa ku mmotoka nga kuliko n’omukuumi omu wabula omukuumi omulala eyabadde nabo yesimatudde n'adduka nga kati akyayiggibwa poliisi.

Kigambibwa nti okuva oluguudo lwa Northern Bypass lutandika okukolebwa mu bitundu bya Namugoona ne Masanafu,ababbi b’amafuta emitayimbwa ssaako n'ebyuma ebirala ebikola oluguudo,beeyongera obungi mu kifo kino era eby’okwerinda ne binywezebwa okusobola okukuuma ebyuma ebikola oluguudo.

 

Abakwatiddwa kuliko David Kalungi,Siraje Mukakalukanyi,Simon Katumba,Saul Ochieng  ne Nobert Andana nga bano bakuumibwa ku poliisi ya Lubigi webanajjibwa batwalibwe mu kkooti bawerennembe n’omusango gw’okubba ebintu bya gavumenti.