Omukazi eyabadde agezaako okkula omusajja bamwebaseeko kirindi

Omukazi eyabadde agezaako okkula omusajja bamwebaseeko kirindi

 Abakwatiddwa ku by'okusobya ku mukazi ekirindi

ABAVUBUKA basatu abagambibwa okubeera ab'emikwano bakwatiddwa lwa kwekobaana ne bakozesa omukazi wa munnaabwe kirindi, oluvannyuma lw’okumukuba.

Bino bibadde mu Ndeeba mu zooni ya Kajubi webayita mu Mayuuni, omuvubuka Ismah Kayabula amanyiddwa nga ‘Manicure’ omusiizi wa Cutekisi, bwe yagenze mu bbaala ya Dancers ku luguudo lw’e Salaama okwesanyusaamu, eyo gyeyasanze maama w’abaana Jane Luwedde naye eyabadde agenze okwesanyusaamu mu kiro ekyakeesezza ssande.

Baakwataganye, era Kayabala naatandika okumugulira omwenge neby’okulya ppaka budde kukya, , ku mmande ku makya yasazeewo amuleete awaka asasule byeyalidde naye naakkiriza, Kayabala agmba bweyatuuse awaka banne baasulawo nabo bagaanye okumuggulira nga bagamba nti tebasobola kumuleka kusanyuka yekka nga bbo tebalina ate nga ssente zabadde zimuweddeko nga tasigazizzaawo za loogi.

 

Oluvannyuma lw’akaseera nga bakonkomalidde wa bweru n’omukazi, banne bamwefuulidde ne bamukuba mizibu n'azirika, olwo ne bayingiza omukazi gwe yaleese munda ne bamukozesa, Kayabala olwazze engulu yaddukidde ku poliisi mu Ndeeba emuyambe, era yagenze okutuuka ku muzigo ng’omukazi bali mu kunyumya kaboozi n’omu ku banne ba Kayabala ayitibwa Albert Mukiga, kyokka ng’abalala batudde basakaanya, bonna ne bakwatibwa.

Abakwate kuliko; Albert Mukiga, Bosco ne Musa ne Jane Luwedde, mu kuswala okungi, Luwedde yeegayiridde poliisi emusonyiwe emute,  kubanga ajja kuswala mu baana be.

Bwebamubuuzizza bba omutuufu ku bavubuka bonna, yeegaanye Kayabula n’asonga ku Mukiga gwe bamusanze naye mu kikolwa, n'agamba nti  wadde Kayabula yaguze omwenge, naye Mukiga yaalabika obulungi.

Kayabula kimubuuseeko,  n'asaba Mukiga ne banne okumuliyirira 10,000/- agende yeejjanjabise abalekere omukazi, baazisonze ne bamusasula bwe batyo ne bateebwa, abakwate bagguddwaako omusango gw’okukuba Kayabula ku fayiro SD: 16/05/-06/17.