Omulamuzi asindise omuwandiisi w'ebyapa mu kkomera lwa kubalaatira mu kakiiko

Yayanukudde abalaata ng’agamba nti ye bwe yeetegereza empapula ze baamuwa teyazirabamu buzimu.

 Royera olwasoose mu kakiiko.

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA ne ALICE NAMUTEBI
 
OMULAMUZI Catherine Bamugemereire akulira akakiiko akabuuliriza ku mivuyo egyetobese mu ttaka akambuwadde n’alagira poliisi okukwata eggalire omuwandiisi w’ebyapa, Atalo Royera lwakugaba byapa mu lutobazzi n’okwanukula ebibuuzo ng’alengezza akakiiko.
 
Yasoose kumubuuza oba yasoma amateeka okusinziira ku ngeri gye yabadde ayanukula, yazzeemu n’amubuuza lwaki yagaba ekyapa ku bulooka 170 poloti 667 Kyaddondo ng’ate ebiwandiiko byali bimaze okulaga nti ettaka kw’agaba ekyapa lya lutobazzi.
 
Royera ng’atwalibwa mu kadduukulu.

 

Yayanukudde abalaata ng’agamba nti ye bwe yeetegereza empapula ze baamuwa teyazirabamu buzimu.
 
Omulamuzi yayongedde okumubuuza nti ettaka lino lyasabibwa abantu ab’enjawulo okwali Moses Mubiru Balwana ne Brian Kasule eyafa nga bali mu kugoba ku byapa.
 
Lwaki Kasule bwe yafa ate ebyapa ebyali mu mannyage baabikysa okubissa mu mannya g’abantu abalala!
 
Atalo yayanukudde nti ye yagabako ekyapa kimu ebisigadde byagabibwa balala nga poloti 684 ku bulooka 170 kyagabibwa Emmanuel Bamwite nga kati akolera mu ofiisi y’ebyapa e Wakiso.
 
Omulamuzi yalabudde Atalo nti kubanga yakimanya nti by’akola birimu emivuyo kyokka n’agenda mu maaso n’okugaba ebyapa. Yeetonze ku ngeri gye yabadde ayanukulamu akakiiko omulamuzi bwe yayongedde okumubuuza ebibuuzo n’abalaata kwe kulagira bamuggalire ku poliisi e Wandegeya.
 
Atalo yeeyanjudde ng’omuwandiisi w’ebyapa mu minisitule y’ebyettaka.
 
Ettaka eryamuzaalidde akabasa lya lutobazi olusangibwa e Kijabijo ku ludda lw’e Gayaza nga baaligabako ebyapa ebiwera mu mankwetu ng’abantu babulijjo beekobaana n’abakungu b’ebyettaka e Wakiso ne Kampala.