Alonkomye abakulembeze b'e Jinja ku mivuyo gy'ettaka

Ibrahim Magemeso yategeezezza akakiiko nti ettaka ly’eggaali y’omukka lyamuviirako okulekulira omulimu gwe e Jinja, bakama be ne bamutwala ku ofiisi z’ettaka e Ntebe ng’abakulembeze e Jinja bamuweereza obubaka ku ssimu obw’okumutta singa alemerako n’agaana okuyisa fayiro zaabwe bafune ebyapa.

 Kisakye (ku kkono) eyaguza Town Clerk w’e Jinja ettaka erigambibwa okubbibwa ng’atwalibwa mu kaduukulu.

Bya ALICE NAMUTEBI NE DONALD KIRYA

EYALI akulira eby’okupunta ettaka e Jinja aloopedde akakiiko abakulembeze b’e Jinja abaamuviirako okulekulira ekifo kye nga bamulaalika okumutta olw’okubalemesa okufuna ebyapa ku ttaka ly’eggaali y’omukka.

Ibrahim Magemeso yategeezezza akakiiko nti ettaka ly’eggaali y’omukka lyamuviirako okulekulira omulimu gwe e Jinja, bakama be ne bamutwala ku ofiisi z’ettaka e Ntebe ng’abakulembeze e Jinja bamuweereza obubaka ku ssimu obw’okumutta singa alemerako n’agaana okuyisa fayiro zaabwe bafune ebyapa.

Mu be yaloopye kwabaddeko eyali kansala w’e Walukuba, Richard Mbaziira n’omuwandiisi wa NRM e Jinja, Julius Zziwa.

Bano yabannyonnyoddeko ng’abantu abeeyambisa ssente era abalina omululu gw’ettaka nga buli lye balaba tebafaayo ku nnannyini lyo nga kano ke kamu ku bukodyo bbo n’abalala 58 bwe baali bakozesa okusaba ebyapa ku ttaka ly’eggaali y’omukka.

Yasomedde akakiiko obubaka Mbaziira bwe yamuweereza ku ssimu nnamba 077388161 ng’amutegeeza nti, “Oba oyagala oba toyagala, ffenna 58 tulina okufuna ebyapa, bw’oba mugezi lekerawo okukola abalabe e Jinja kubanga tomanyi kye tuyinza kutuusaako.”

Ate Brasio Waibale Nnume, 72 eyali akulira akakiiko k’ettaka mu disitulikiti y’e Jinja ebintu byamusobyeko nga bamukunya n’atuuka n’okutegeeza ssentebe waako omulamuzi Catherine Bamugemereire nti kirabika talina mukisa!

Waibale ye yayisa fayiro z’abantu okufuna ebyapa mu kibira kye Kimaka n’okugaba liizi ku ttaka ly’eggaali y’omukka.

Bwe yabadde akunyizibwa ku ttaka lino, Waibale yatandise okugamba akakiiko nti yalwanira Gavumenti mu nsiko naye tasiimiddwa olw’ebirungi by’akoledde eggwanga kubanga n’abaana be bonna basomye naye tebaweereddwa mirimu mu Gavumenti ate ng’okugenda mu ofiisi eno bamusaba busabi.

Waibale yagambye nti bwe yayingira ofiisi y’ebyettaka wakati wa 2010 - 2015 yasangawo fayiro mpitirivu kubanga Jinja yali emaze emyaka 2 nga terina kakiiko ka ttaka ku disitulikiti era kino kyasalibwawo abantu fayiro zaabwe zikolebweko mu bwangu nga buli lutuula lw’akakiiko basobola okuyisa fayiro ezisoba mu 250.

Waibale baamulaze ebiwandiiko nga mu fayiro ze yayisa mwalimu n’ez’abavubuka ab’emyaka 37 kati abalina ebyapa bya yiika 4 ku ttaka lya munisipaali n’agamba nti guno omulembe gw’abavubuka kubanga be bakola emirimu egivaamu ssente empitirivu.

Yagaanyi okukkiriza nti ettaka ly’ekibira n’eggaali y’omukka yabiyisa mu bukyamu ng’agamba nti ku ttaka tekwaliko kabonero kakiraga.

Ate poliisi eggalidde omusuubuzi w’e Jinja Yahya Kisakye olw’okulimba akakiiko nti alina obuwandiike obukakasa obwannannyini bw’ekibira ky’e Kimaka kyokka bwe babimusabye n’agamba nti byonna byabbibwa mu mmotoka Ku ttaka ly’ekibira Kisakye era yasangiddwa ng’alina yiika z’ettaka endala 12 ezaali eza Jinja Munisipaali kyokka ng’engeri gye yalifunamu erimu amankwetu.

Omulamuzi Catherine Bamugemereire yasoose kumubuuza oba nga akozesa erinnya lya Sipiika Rebecca Kadaga okutiisatiisa abantu naddala abakungu b’akakiiko k’ettaka e Jinja ne bayisaawo fayiro ze mu bwangu n’agamba nti ettaka lyonna lyalina alifunye mu makubo matuufu.

Yategeezezza akakiiko nti jjajja we Apollo James yali abeera mu kibira ky’e Kimaka era yasasulanga obusuulu n’ategeeza nti ekibira ky’e Kimaka kyabwe kyansikirano.

Yasuubizza okuleetera akakiiko lisiiti jjajja we kwe yasasuliranga okukakasa akakiiko nti ettaka yalifuna mu butuufu kyokka bwe yatuuse okunnyonnyola akakiiko n’agamba nti ebiwandiiko byabbibwa.

Omulamuzi Bamugemereire yamugambye nti bw’ataba mukumpanya wa ttaka kirabika alina abantu abamukozesa. Kisakye yabuuzizza omulamuzi nti, “Nnyabo ky’ogamba ku myaka 37 sikkirizibwa kuba na ttaka mu munisipaali?”

Kino kyanyiizizza omulamuzi n’alagira poliisi emutwale asuleyo nga bwe bongera okumunoonyerezaako