Asobezza ku kawala ke ak'emyaka 2 nga mukyala agenze mu ddwaaliro okuzaala

OMUSAJJA kaggwensonyi asobezza ku muwala we ow'emyaka 2 mukyala we bw'abadde agenze mu ddwaaliro okuzaala.

Opima ng'ali ku ttaka oluvannyuma lw'okukubwa abatuuze. Mu katono ke kawala ke ak'emyaka 2 ke yatunuzza mu mbuga za sitaani

BYA MARY ANTHONY NANTAMBI

Joseph Opima (35) omutuuze w’e Akright ku lw’e Ntebe  teri amanyi kimulinnye bw'akkakkanye ku muwala we ow'emyaka ebiri n'amusobyako n'amuleka.

Kigambibwa nti Opima okusobya ku muwala we kyaddiridde mukyala we eyategeerekeseeko erya Scovia okuddusibwa mu ddwaaliro ng'ebisa by'okuzaala bimusimbye n'aleka Opima ne muwala we bokka mu nju.

Opima yayingidde mu kisenge kye nga muwala we ali mu tulo kyokka awatali kusaasira n'amusobyako mu maanyi n'amwabya ebitundu by'ekyama.

Omwana bakira akaaba, okusesema, okufulumya obubi wamu n'omusaayi kyokka nga Opima alinga aliko ekitambo!

Mulirwana atayagadde kwatukiriza mannya ge agamba nti baawulidde omulanga gw’omwana ogwabaleetedde okudduka mu maka ga Opima okulaba ogubadde.

Baasanze Omutiini ali ku muwala we kwe kumuwogganira n'okukuba enduulu eyasombodde abantu ne bakkakkana ku Opima ne bakuba oyo kujula kumutta.

Opima emagombe yasimbyeyo kitooke oluvannyuma lwa poliisi y'e Kajjansi okumutaasa ku batuuze n'atwalibwa mu ddwaliro ly'e Ntebbe ng'ali bubi.

Opima yagguddwaako omusango gw'okusobya ku muwala we atanneetuuka ku fayiro REF SD :09/20/06/17