Ow'emyaka 18 akwatiddwa lwa kubba basajja

CATHERINE Namazzi 18, poliisi erudde ng’emunoonya ku misango gy’okukuba abasajja kalifoomu n’ababba.

 Namazzi ng’ali ku poliisi e Kawempe. Ebifaananyi bya MOSES LEMISA

Yakwatiddwa poliisi y’e Kawempe gye yategeerezza nti mukozi ku HTV e Mulago era mutuuze w’e Kawempe Ttula.

Baamukwatidde ku Freedom City oluvannyuma lwa Hassan Mujuzi ow’e Lugoba okumulumiriza nga bw’aludde ng’akuba abasajja abamukwanye kalifoomu n’ababba.

“Namazzi mmulinako obujulizi nti alina ekibinja ky’abawala n’abalenzi abagenda mu buli bbaala ya Kampala n’ekigendererwa ky’okukwanibwa abasajja oluvannyuma ne babeefuulira ne babakuba kalifoomu ne bababba,” Mujuzi omukozi mu bbaala ya Los Angels e Kawempe bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti, Namazzi yali mukwano gwa mukyala we ng’era agenda ewuwe n’asiibayo kyokka lumu yalaba tebaliiwo n’abba ebintu by’omu nju okuli ttivvi n’ebirala nga baludde nga bamunoonya kyokka ekyamwewuunyisizza nga ne poliisi ebadde emunoonya .

Namazzi obwedda eyeebikka mu maaso nga tayagala kumukuba bifaananyi, yategeezezza nti Mujuzi ayinza okuba nga by’ayogera bituufu kyokka ye talina ky’abimanyiiko.

Yasabye abaserikale bamuleke bateese ne Mujuzi.

Omusango guli ku fayiro nnamba SD:REF 34/03/06/2017.

Ate William Mulindwa ow’e Kawempe Lugoba yategeezezza nti, waliwo mukwano gwe eyagenda n’omuwala mu loogi era nga yamutegeeza nti agenda kuvaayo mangu kyokka yakeesezaayo.

Aba loogi baamusanga mu buliri ku makya nga tamanyi biri ku nsi, nga ne ssente ze obukadde 9 omuwala abubbye!