Ssemaka akubye yaaya n'amwasa omutwe lwa kumumma mukwano

HARRIET Nassolo 30, eyajja okukola obwayaaya, mukama we amusabye omukwano n’agaana n’amukuba n’amwasa omutwe.

 Nnassolo

Mukasa Ssebugenyi ow’omu zooni ya Kasenyi e Wankuluku ye yakubye Nassolo olw’okumugaana.

Nassolo agamba nti yajja ewa Ssebugenyi kati emyaka esatu, ng’alabirira abaana be 8 ku 80,000/- buli mwezi.

Agamba nti yali yaakakolawo emyezi esatu n’amuzinduukiriza mu kisenge ky’abaana gye yali asula nga mukyala we taliiwo n’amukwata n’amufunyisa olubuto.

Bino mukyala wa Ssebugenyi olwabitegeera n’anoba kwe kumatiza Nassolo asigale mu maka afumbe.

Nassolo agamba nti yazaala omwana kati wa myaka ebiri kyokka nga kati ali lubuto lulala.

“Ku luno namusabye ssente zange obukadde busatu ze nkoledde mmuviire ne ηηaana okwegatta naye n’ankasuka ebweru ng’ankuba n’akwata ejjinja n’alinkuba ku mutwe, baliraanwa be badduukiridde ne bayita poliisi y’e Kabowa eyantutte e Mulago.

Kati ajjanjabirwa ku kalwaliro ka Mulago Medical Center e Wankulukuku gye yatwaliddwa ng’azzeemu okutabuka.