Akalulu ka Disitulikiti e Kalungu kalaze okuvuganya okwamaanyi mu bibiina by'obufuzi

Akalulu ka Disitulikiti e Kalungu kalaze okuvuganya okwamaanyi mu bibiina by'obufuzi

 Minisita Ssempijja (ku kkono) ne Muluuli Mukasa (wakati) abayiggira Kyabaggu akalulu.

ABEEGWANYIZA entebe ya LCV e Kalungu engabo bakyagirumizza mannyo buli omu ng’awera masajja bw’agenda okumegga banne ennume y’ekiggwo n’enkoona ennywere ku ttaka.

Okulonda kwa August 31 ng’esigadde ennaku 13 baggwe eggayang’ano. Akwatidde aba NRM bbendera, Omulangira Richard Kyabaggu Kalyamaggwa akalulu yakalagiddemu obwetowaze ng’afukaamirira abalonzi n’okubamatiza nti “abalonzi mmwe bakama bange abanjazika obuyinza mbasaba mubunzirize nga munzizaayo mu ntebe mmalirize ekisanja kyange”.

Kyabaggu mu nkung’ana ayambibwako minisita w’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi era omubaka wa Kalungu East mu Palamenti, Vincent Bamulangaki Ssempijja eyeegattiddwako ow’abakozi Muluuli Mukasa n’abalala.

Kyabaggu yannyonnyodde abalonzi nti mu mwaka ogumu gw’amaze mu ntebe Kalungu abadde atandise okumulinnyisa ng’enguudo azikoze mw’agguliddewo n’empya kati nti ate okuva Gavumenti bwe yamukwasizza ebyuma ebipya agenda kulima n’egizenda emugga.

Agattako nti oludda mu ntebe atandikira ku kuzimba ekitebe kya disitulikiti okuva Pulezidenti bwe yamuwadde obukadde 149 so nga n’ekizibu ky’amasannyalaze kyaweddewo kuba Kalungu yaweereddwa ttulansifooma 168 ez’okugabunyisa mu masoso gy’ebyalo.

Baminisita Muluuli Mukasa ne Ssempijja baamuwagidde nti Kyabaggu bamulabyemu obukozi n’okugatta abantu ng’ajja kubayunga bulungi ne Gavumenti ekulirwa Pulezidenti Museveni ne basaba Bannakalungu obutaddamu kuzibikira luseke lwabwe.

Emmanuel Musoke owa DP yagambye “Nsaba ntebe ya disitulikiti, Nze ndi musajja muyivu eyakuguka mu bwa yinginiya ng’emirimu egisinga ngikolera mu kibuga naye ndi Munnakalungu aziikibwa e Sseeta-Kawule mmwenna mumanyiiyo”.

Omubaka Ssewungu ng’asinziira mu nkung’ana z’owa DP, Musoke yasabye ab’e Kalungu bazze Musoke mu ntebe asobole okugoba ababbi mu disitulikiti.

Banna DP okuli n’ababaka ba Palamenti baatutte munna CP, John Ken Lukyamuzi abayiggireko obululu bwa Musoke nga bagamba nti y’ajja okubayambako mu kutaasa ettaka lya Uganda ate n’okulemesa Pulezidenti okujjulula ekkomo ku bisanja.

Ate abeesimbyewo ku lwabwe okuli Mathias Kintu ng’ono enkung’ana azikubye mu kabuga k’e Lukaya yamatizza abalonzi nti abamuvuganya bonna yabamezze dda kuba y’alina obusobozi bw’okukulembera abantu gattako omutima gwa Kalungu.

Kintu agambye nti wadde muvubuka muto mu myaka naye alinawo ke yeekoledde ng’alina bbizinensi ezitambula z’ataandiseewo mu Kalungu kw’agatta n’amaka ge ng’abalonzi we bannamusing’ananga ne batemera wamu empenda ezitwala Kalungu mu maaso.

Ate David Luyombo Busaggwa naye engabo akyaginywezezza ng’agamba nti alina obumanyirivu bw’obukulembeze bw’afunidde mu bbanga ly’amaze ng’akiikirira abaliko obulemu okuviira ddala e Masaka nga Bannakalungu bwe bamukwasa siteeringi ya disitulikiti tajja kubakuba kigwo.