Abatabbuliiki basomedde abalamuzi edduwa enkambwe!

Abatabbuliiki basomedde abalamuzi edduwa enkambwe!

 Sheikh Mbaziira

ABAKULEMBEZE b’Abatabbuliiki e Nakaseero basomedde abalamuzi ne poliisi dduwa enkambwe olwa kye baayise okulaga kyekubiira ku ngeri gye bakuttemu omusango gwa Sheikh Yunus Kamoga ne banne be baasalidde okusibwa amayisa n’abalala emyaka 30 ku gy’obutujju.

Sheikh Abdul Hamidu Mbaziira omwogezi w’Abatabbuliiki yasimbye amannyo ku buli kigambo era mu ddoboozi ery’omwanguka n’agamba nti: Nkolimira buli munnanfuusi omuli abamu ku balamuzi, abaserikale ba poliisi ne bambega ba gavumenti abeefuula abajja wano mu kusaala ng’ate batubega ne batuuka n’okutuwaayiriza ebintu ebikyamu.

Yayongeddeko nti: Abannanfuusi abo batuusizza ne banaffe okusibirwa obwereere. Abasajja abo Allah batutaaseeko, bafe nga tebalina maanyi ga kisajja.” Waasooseewo okusaala esswala ya Zuhuri eggulo e Nakasero oluvannyuma abakulembeze ne bata akaka.

Yagambye nti Amir Haruna Kasujja yamutisse obubaka nti atadde ekiragiro ku ba Imaam bonna mu ggwanga okusoma dduwa ey’enjawulo eyitiibwa “Kunut” era Imaam oyo yenna awulira nti tasobola kugisoma addeko ebbali awe omulala omwagaanya okugisoma kubanga bakizudde nga y’eyeetaagisa mu muyaga guno oguliwo.

Dduwa eno esomwa mu kaseera ak’obuzibu ng’ewanjagira Allah okubaggya mu buzibu obwo, n’okubonereza abo bonna ababa babubatuusizzaamu.