Bannaddiini bavuddeyo ku ttemu erisusse

BANNADDIINI bavuddeyo ku ttemu eribuutikidde eggwanga omuli abawala abatemulwa mu Nansana ne Katabi n’abeebijambiya abazzeemu okutigomya Masaka!

 Omulabirizi Katumba Tamale ng’ayogera mu lukiiko ng’omuserikale Tulibagenyi amwegese amaaso

Kalidibaali Wamala

 

poliisi okugituusa ku batemu bagaweeyo.

Twakakwata basatu - poliisi

Omuduumizi wa poliisi mu ttundutundu lya Masaka, Latif Zaake yategeezezza nga poliisi bw’eriko abantu basatu be yakutte ku byekuusa ku ttemu lino n’asaba abantu okwongera okuyamba poliisi okutuuka ku batemu bonna.

Yaggumizza enkola ya ‘Mayumbakkumi’ gye yayogeddeko nti eno yaakubayambako okwongera okunyweza ebyokwerinda ng’abatuuze beekolamu omulimu.

Yagambye nti, ssinga abantu bajjumbira ‘Mayumbakkumi,’ baakutuuka ku kituufu kuba okunoonyereza okukoleddwa poliisi bukya ttemu lino litandika yalaga nti abakikola babeera nzaalwa za kitundu.  

Abebijambiya batemyetemye abapoliisi  

Ekibinja ekirala olwategedde nti bannaabwe ab’e Masaka basitudde buto, nakyo ne kiddamu okutigomya Bannakampala.

Bano baayingiridde abaserikale ba poliisi okuli ASP Isaac Mugera akolera ku poliisi y’e Jinja ne mukyala we, ASP Hanifa Mugera akolera ku CPS mu Kampala mu maka gaabwe e Ggangu ku luguudo lw’e Busaabala.

Mugera eyasangiddwa ku poliisi y’e Kibiri ng’akola sitetimenti, yagambye nti abazigu bano baamuyingiridde nga bukya era yabeekangidde munda ne bamutema ejjambiya ne batwala yunifoomu za poliisi y’ebidduka nnya n’amayinja gaakwo, ttivvi, essimu mukaaga ne ssente enkalu.

Yagambye nti amangu ddala nga baakamala okubabba, baakubye enduulu abatuuze ne babadduukirira ne batandikirawo omuyiggo okukakkana nga bakutte abavubuka bano era ababiri okuli Katongole ne Ssenfuka baabeetegerezza nga be bamu ku baabayingiridde n’okubatema.

Bano baggyiddwa ku poliisi y’e Kibiri ne batwalibwa e Katwe gye bagguddwaako omusango gw’okubba n’okutuusa obulabe ku baserikale ba poliisi oguli ku fayiro SD:06/02/09/2017.