Katikkiro wa Uganda Ruhakana Rugunda agumiza bannayuga ku bukiiko bw'enkayana z'ettaka

Katikkiro wa Uganda Ruhakana Rugunda agumiza bannayuga ku bukiiko bw'enkayana z'ettaka

 Dr Ruhakana Rugunda ng'annyonnyola ku nsonga z'obukiiko bw'enkayana z'ettaka

KATIKKIRO Dr. Ruhakana Rugunda agumizza Bannayuganda nti Gavumenti efuba okulaba ng’essaawo obukiiko obugenda okuwozesa emisango gy’enkayana z’ettaka (land tribunals).

Gavumenti yali esuubizza okusaawo obukiiko bw’ettaka buno ku maggombolola buyambe mu kuwozesa emisango gy’enkayana z’ettaka kyokka emyaka gyekulunguludde nga tewali kikolebwa.  

Kyokka Katikkiro Rugunda abadde addamu ebibuuzo by’ababaka ku nsonga ezitali zimu agambye nti gavumenti ekirowoozo ky’okussaawo obukiiko buno ekyakirina era efuba okulaba ng’ebussaawo.

‘’Minisitule y’ebyettaka egenda kuggya n’enkola ennung’amu ey’okutondawo obukiiko bw’ettaka buno era ejja kugirangirira mu bbanga eritali ly’ewa’a’’ Rugunda bwe yagambye.

Ku nsonga endala Rugunda asuubizza nga gavumenti era bw’egenda okukola ku ntegeka z’okukyusa Konsityusoni mu nnimi z’ekinnansi. Mu kukola Konsityusoni ya 1995 ,Bannayuganda baasuubizibwa nga bw’egenda okuvunuulwa mu nnimi z’ekinnasi Bannayuganda bonna bagitegeera.

Kyokka Rugunda yagambye nti kino tekinakolebwa era gavumenti egenda kukibagako. Ng’addamu ekibuuzo ky’omubaka w’e Bufumbira East, Dr. Nsaba Buturo ku bavubuka okulowooleza ennyo mu kuggaggawala nga tebatuuyanye, Dr. Rugunda yagambye nti buvunaanyizibwa bwa buli muntu okulaba nga bayigiriza abavubuka okwekolerera beggyemu endowooza