Brig. Kasirye Ggwanga yeekandazze mu kakiiko k'ebyettaka

Brig. Kasirye Ggwanga yeekandazze mu kakiiko k'ebyettaka

Brig. Kasirye Ggwanga

BRIG. Kasirye Ggwanga yeekandazze n’ava mu kakiiko k’ebyettaka e Mubende gye yabadde ayitiddwa okunnyonnyola ku mivuyo gy’ettaka. Kyokka n’akakiiko kalemeddeko omulamuzi n’amulagira nti ateekwa okudda.

Kasirye mu kwekandagga yamaze kubuuzibwa ku ngeri gye yayambako yinvesita enzaalwa y’e Girimaani okusengula abantu ku ttaka e Mubende nga tebaliyiriddwa. Ebert Byenkya, munnamateeka w’akakiiko kano yagambye nti, Kasirye Ggwanga yabadde ayitiddwa ku Lwokusatu okwanukula ebibuuzo by’akakiiko wabula bwe yamaze okukola sitatimenti ng’abantu abalala bwe bakola, teyabawadde budde kumubuuza bibuuzo bye bateekeddwa kumubuuza ne yeekandagga.

Ono, teyalabise mu lutuula lw’akakiiko omubeera ne bannamawulire lwe yabadde ateekeddwa okulabikamu ne baddamu okumuyita olunaku lw’eggulo ku Lwokuna.

Yatuuse e Mubende mu budde bw’emisana era ku ssaawa nga 8:00 era yalabiddwaako nga yeetala ava muno adda muli era waayise akaseera katono n’abulawo.

'NABABUULIDDE BYE BAABADDE BEETAAGA'

Ggwanga bwe yatuukiriddwa yagambye nti, yagenze mu kakiiko k’ettaka e Mubende ku Lwokusatu okubabuulira by’amanyi ku mivuyo gye kanoonyerezaako ku byaliwo ng’Abagirimaani basengula abantu be baasanga ku ttaka, wabula n’agaana okubyogerera mu lujjudde era sitetimenti yagikoledde mu kifo eky’enjawulo. “Nze sirina musango mu kakiiko kano wabula babadde baagala mbabuulire ebyaliwo ng’abantu bano basengulwa ku ttaka na ki ki ekiyinza okukolebwa okumalawo emivuyo gino", bwatyo Kasirye Ggwanga bwe yategeezezza ku ssimu.

Yagambye nti “Bwe bambuuzizza ensasula gye baasasulamu abantu nabategeezezza nti kituufu mu kiseera kino nze nali Gavana wa Mubende wabula ekizibu ekyaliwo ku Mubende, Bannayuganda baali bamwerabira nti eriyo ettaka ng’ate ddenne nnyo.” Ggwanga bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, yiika yali egula 150,000/- kubanga yali nsiko era nga teri makubo n’akola ekkubo okuva e Maddu okutuuka e Kassanda ekyayamba ennyo ku nkulaakulana okweyongera.

“Nkakasa nti abantu mu bitundu bino abali ku ttaka bonna baasasulwa era tewali yalaga kunyigirizibwa kwonna kubanga ze zaali ssente ezigya mu ttaka lyabwe era sakkirizanga kusengula muntu nga tasasuddwa", Ggwanga bwe yategeezezza. Yagambye nti, bwe baalabye ng’ettaka lirinnye, kwe kwagala okuzza emisango mu kakiiko nga bagamba nti tebaasasulwa.

Yayongeddeko nti, abantu be bataasasula be bano abajja ng’ekiro ku ttaka ne bagumba mu bitundu gye baamaze okusasula nga bamaze okutegeera nti waliwo omugagga asasula abantu. “Nasabye bayise ekiragiro baddemu okukuba maapu y’ebyapa by’ettaka ly’e Mubende lyonna bazuule ekituufu kubanga n’ekitongole kya NFA baakozesa omukisa guno okuwamba ettaka eritali lyabwe ne bakuba ebyapa mu busaana ng’ate si bibira", Ggwanga bwe yategeezezza.

MINISITA MURULI AWUNIIKIRIZZA AKAKIIKO

Omulamuzi Bamugemerere ne bakamisona abali ku kakiiko k’ettaka bawuniikiridde ku ngeri minisita gye yakwasibwa omulimu gw’okuyamba abantu abaagobwa ku ttaka n’agukola gadibe ngalye. Minisita Muruli Mukasa owa minisitule evunaanyizibwa ku bakozi ba Gavumenti, ye yamazeeko akakiiko k’ettaka ebyewungula ng’alaga engeri abantu gye baasengulwa ku ttaka eriweza yiika 7,680 nga tebasoose kupima bunene bwa bibanja byabwe yadde okuwa omuwendo ku byobugagga bye balinako.

Ono, Pulezidenti Museveni yali yamuwa obuvunaanyizibwa okubeera ssentebe w’akakiiko akaatondebwawo okunoonyereza ku mivuyo, ettemu, okumenya amayumba n’okwonoona ebintu by’abatuuze ku kyalo Bukoba mu ggomboloola y’e Butuntu mu disitulikiti y’e Mubende nga kigambibwa nti byakolebwa ku lw’omugagga Abid Alam owa Alam Group, kyokka ate n’adda ku ludda lwa mugagga abatuuze ne basigala mu bbanga.

Obujulizi obwaleetebwa mu maaso g’omulamuzi Catherine Bamugemereire, abatuuze balumirizza nti, mu kifo ky’okubayamba, Muruli n’abakungu ba Gavumenti badda ku ludda lw’Omuyindi era n’abalagira okukkiriza ssente ezitagya mu bintu byabwe bave ku ttaka. Muruli yazze n’ebiwandiiko ebiraga engeri abantu gye baasasulwamu naye nga tebiraga bunene bw’ettaka bwe baalina n’ebirime bye balinako, kamisona Robert Ssebunya, n’amutabukira n’amubuuza oba nga ddala Munnayuganda era ng'alumirirwa eggwanga lye. Ssebunnya:

Sirowooza nti lipooti gye wakola wagiwa Pulezidenti kubanga singa wakikola yandibadde agikuddiza oddemu omulimu. Omuntu bw’asoma lipooti ayinza okulowooza teyakolebwa Munnayuganda oyinza otya okuliyirira omuntu alina ekitundu kya yiika 450,000/ ate nga kw'alimira? Muruli: (Yasoose kusirikirira) Oweekitiibwa nze nasanga abatuuze abamu baamaze dda okutegeeragana n’Omuyindi ssente ez’okubasasula.

Ssebunnya: Mu kitundu mwalimu Klezia eyazimbibwa mu myaka gya 50 n’essomero ku biwandiiko by’otuwadde nga tewali we kiragibwa nga byasasulwa ate nga Faaza n'Abakatoliki baatutegeeza nti byamenyebwa abantu b’Omuyindi. Muruli: Bwe twalambula ettaka twalabako kkanisa z’abalokole zokka ne tusasula bannanyini zo era tetwasangako ssomero lyonna yadde Klezia.

RDC W’E MUBENDE AKWATIDDWA Omulamuzi Bamugemereire yalagidde RDC w’e Mubende Florence Beyunga okukwatibwa oluvannyuma lw’okulemererwa okunnyonnyola akakiiko ku mivuyo gy’ettaka lino.Beyunga yabadde alabiseeko mu kakiiko eggulo ku Ssaawa 7:00 ez’emisana kyokka bwe yatandise okutamattama n’okunanaagira nga bamubuuza ebibuuzo abiddamu ngeri ya matankane nga mpale z’abaseveni, Bamugemererire kwe kulagira akwatibwe era ne bamukwatirawo.

RDC yabadde yeegaana nti tawuliranga ku bantu basibwa n’okutulugunyizibwa olw’ensonga z’ettaka era awo kwe kulagira akwatibwe olw’okulimba akakiiko.

BRIG. Kasirye Ggwanga yeekandazze n’ava mu kakiiko k’ebyettaka e Mubende gye yabadde ayitiddwa okunnyonnyola ku mivuyo gy’ettaka. Kyokka n’akakiiko kalemeddeko omulamuzi n’amulagira nti ateekwa okudda. Kasirye mu kwekandagga yamaze kubuuzibwa ku ngeri gye yayambako yinvesita enzaalwa y’e Girimaani okusengula abantu ku ttaka e Mubende nga tebaliyiriddwa. Ebert Byenkya, munnamateeka w’akakiiko kano yagambye nti, Kasirye Ggwanga yabadde ayitiddwa ku Lwokusatu okwanukula ebibuuzo by’akakiiko wabula bwe yamaze okukola sitatimenti ng’abantu abalala bwe bakola, teyabawadde budde kumubuuza bibuuzo bye bateekeddwa kumubuuza ne yeekandagga. Ono, teyalabise mu lutuula lw’akakiiko omubeera ne bannamawulire lwe yabadde ateekeddwa okulabikamu ne baddamu okumuyita olunaku lw’eggulo ku Lwokuna. Yatuuse e Mubende mu budde bw’emisana era ku ssaawa nga 8:00 era yalabiddwaako nga yeetala ava muno adda muli era waayise akaseera katono n’abulawo. 'NABABUULIDDE BYE BAABADDE BEETAAGA' Ggwanga bwe yatuukiriddwa yagambye nti, yagenze mu kakiiko k’ettaka e Mubende ku Lwokusatu okubabuulira by’amanyi ku mivuyo gye kanoonyerezaako ku byaliwo ng’Abagirimaani basengula abantu be baasanga ku ttaka, wabula n’agaana okubyogerera mu lujjudde era sitetimenti yagikoledde mu kifo eky’enjawulo. “Nze sirina musango mu kakiiko kano wabula babadde baagala mbabuulire ebyaliwo ng’abantu bano basengulwa ku ttaka na ki ki ekiyinza okukolebwa okumalawo emivuyo gino", bwatyo Kasirye Ggwanga bwe yategeezezza ku ssimu. Yagambye nti “Bwe bambuuzizza ensasula gye baasasulamu abantu nabategeezezza nti kituufu mu kiseera kino nze nali Gavana wa Mubende wabula ekizibu ekyaliwo ku Mubende, Bannayuganda baali bamwerabira nti eriyo ettaka ng’ate ddenne nnyo.” Ggwanga bwe yategeezezza. Yagasseeko nti, yiika yali egula 150,000/- kubanga yali nsiko era nga teri makubo n’akola ekkubo okuva e Maddu okutuuka e Kassanda ekyayamba ennyo ku nkulaakulana okweyongera. “Nkakasa nti abantu mu bitundu bino abali ku ttaka bonna baasasulwa era tewali yalaga kunyigirizibwa kwonna kubanga ze zaali ssente ezigya mu ttaka lyabwe era sakkirizanga kusengula muntu nga tasasuddwa", Ggwanga bwe yategeezezza. Yagambye nti, bwe baalabye ng’ettaka lirinnye, kwe kwagala okuzza emisango mu kakiiko nga bagamba nti tebaasasulwa. Yayongeddeko nti, abantu be bataasasula be bano abajja ng’ekiro ku ttaka ne bagumba mu bitundu gye baamaze okusasula nga bamaze okutegeera nti waliwo omugagga asasula abantu. “Nasabye bayise ekiragiro baddemu okukuba maapu y’ebyapa by’ettaka ly’e Mubende lyonna bazuule ekituufu kubanga n’ekitongole kya NFA baakozesa omukisa guno okuwamba ettaka eritali lyabwe ne bakuba ebyapa mu busaana ng’ate si bibira", Ggwanga bwe yategeezezza. MINISITA MURULI AWUNIIKIRIZZA AKAKIIKO Omulamuzi Bamugemerere ne bakamisona abali ku kakiiko k’ettaka bawuniikiridde ku ngeri minisita gye yakwasibwa omulimu gw’okuyamba abantu abaagobwa ku ttaka n’agukola gadibe ngalye. Minisita Muruli Mukasa owa minisitule evunaanyizibwa ku bakozi ba Gavumenti, ye yamazeeko akakiiko k’ettaka ebyewungula ng’alaga engeri abantu gye baasengulwa ku ttaka eriweza yiika 7,680 nga tebasoose kupima bunene bwa bibanja byabwe yadde okuwa omuwendo ku byobugagga bye balinako. Ono, Pulezidenti Museveni yali yamuwa obuvunaanyizibwa okubeera ssentebe w’akakiiko akaatondebwawo okunoonyereza ku mivuyo, ettemu, okumenya amayumba n’okwonoona ebintu by’abatuuze ku kyalo Bukoba mu ggomboloola y’e Butuntu mu disitulikiti y’e Mubende nga kigambibwa nti byakolebwa ku lw’omugagga Abid Alam owa Alam Group, kyokka ate n’adda ku ludda lwa mugagga abatuuze ne basigala mu bbanga. Obujulizi obwaleetebwa mu maaso g’omulamuzi Catherine Bamugemereire, abatuuze balumirizza nti, mu kifo ky’okubayamba, Muruli n’abakungu ba Gavumenti badda ku ludda lw’Omuyindi era n’abalagira okukkiriza ssente ezitagya mu bintu byabwe bave ku ttaka. Muruli yazze n’ebiwandiiko ebiraga engeri abantu gye baasasulwamu naye nga tebiraga bunene bw’ettaka bwe baalina n’ebirime bye balinako, kamisona Robert Ssebunya, n’amutabukira n’amubuuza oba nga ddala Munnayuganda era ng'alumirirwa eggwanga lye. Ssebunnya: Sirowooza nti lipooti gye wakola wagiwa Pulezidenti kubanga singa wakikola yandibadde agikuddiza oddemu omulimu. Omuntu bw’asoma lipooti ayinza okulowooza teyakolebwa Munnayuganda oyinza otya okuliyirira omuntu alina ekitundu kya yiika 450,000/ ate nga kw'alimira? Muruli: (Yasoose kusirikirira) Oweekitiibwa nze nasanga abatuuze abamu baamaze dda okutegeeragana n’Omuyindi ssente ez’okubasasula. Ssebunnya: Mu kitundu mwalimu Klezia eyazimbibwa mu myaka gya 50 n’essomero ku biwandiiko by’otuwadde nga tewali we kiragibwa nga byasasulwa ate nga Faaza n'Abakatoliki baatutegeeza nti byamenyebwa abantu b’Omuyindi. Muruli: Bwe twalambula ettaka twalabako kkanisa z’abalokole zokka ne tusasula bannanyini zo era tetwasangako ssomero lyonna yadde Klezia. RDC W’E MUBENDE AKWATIDDWA Omulamuzi Bamugemereire yalagidde RDC w’e Mubende Florence Beyunga okukwatibwa oluvannyuma lw’okulemererwa okunnyonnyola akakiiko ku mivuyo gy’ettaka lino.Beyunga yabadde alabiseeko mu kakiiko eggulo ku Ssaawa 7:00 ez’emisana kyokka bwe yatandise okutamattama n’okunanaagira nga bamubuuza ebibuuzo abiddamu ngeri ya matankane nga mpale z’abaseveni, Bamugemererire kwe kulagira akwatibwe era ne bamukwatirawo. RDC yabadde yeegaana nti tawuliranga ku bantu basibwa n’okutulugunyizibwa olw’ensonga z’ettaka era awo kwe kulagira akwatibwe olw’okulimba akakiiko.