Omusajja bamuggye ku mbaga ye ne bamutwalira mu bbuutu

Omusajja bamuggye ku mbaga ye ne bamutwalira mu bbuutu

 Umwali bwe yali ne James ku mukolo gw’okwanjula nga mukyala kkojjaabwe abakwasa ekirabo.

BULI muntu eyabadde azze okwetaba ku mbaga, yasigadde bimusobedde! Abasajja bana abajjidde mu mmotoka enzirugavu be baddugazza embeera. Essanyu ly’embaga eyabadde eteekeddwa okubeerawo eggulo, kwafuuse kukungubaga era obwedda abooluganda amaziga gabayitamu nga beebuuza ekigendererwa ky’abaawambye omuntu waabwe, tebakitegeera.

Abakulembeze mu Kkanisa y’Abadiventi e Kireka we baabadde bagenda okugattira abagole, nabo byabasobedde oluvannyuma lw’okubategeeza nti omugole awambiddwa era ne gy’atwaliddwa teri amanyiiyo.

ENGERI GYE BAAWAMBYE OMUGOLE OMUSAJJA Abasajja bana bazze ku kasiki era we baatuukidde nga buli muntu yeetala okukakasa nti ebyetaagisa byonna okufuula embaga ey’ekitiibwa, bitegekeddwa bulungi.

Abafumbi nga beekubagiza n’emmere yaabwe

 Baayise omugole omusajja James Baingana 31, ne bamuzza ebbali nga beefudde abalina ensonga enkulu gye bamubuulira. Baamuzzizza okumpi n’emmotoka yaabwe enzirugavu ey’ekika kya Corona era abaabadde okumpi kye bazzeemu okulaba ke kanyoolagano ng’abasajja 4 basikambula Baingana okumukuba mu mmotoka era amangu ago ne basimbula.

Abaabaddewo baagezezzaako okugoba emmotoka eyabadde ewenyuka obuweewo, kyokka ng’ebalekera kafuufu kokka. Owooluganda lwa Baingana ayitibwa Walibridge Mukazayire yategeezezza Bukedde nti abasajja bwe baabadde batwala Baingana yawulidde bamubuuza ku bifaananyi naye teyategedde bifaananyi ki bye baabadde boogerako.

Baingana musuubuzi wa mmere ya nkoko mu Kisenyi - Kampala wabula yafunaomukazi Anosiyata Umwali era mu March w’omwaka guno ne bakola okwanjula kkulamalungi e Kigali mu Rwanda kwe beekubisiza ebifaananyi ebiraga omukwano ogw’ekimmemmette.

Mukazayire teyategedde oba bino by’ebifaananyi abasajja bye baabadde boogerako. Wakati mu kugoba emmotoka eyatutte Baingana, kkojjaawe Vincent Nabenda yalemeddeko nnyo.

Nabenda yabadde ku bodaboda era yawondedde emmotoka eno n’akoppolola n’ennamba UAK 202B. Kyokka yategeezezza nti bwe baatuuse e Mbuya abasajja waliwo emmotoka endala eyamufubuttuse emabega, ne bagikiika mu kkubo. Mu kiseera ekyo, Baingana baamuggye mu mutto ogw’emabega ne bamusuula mu bbuutu nga bamusibye ekiwero ku maaso.

Nabenda naye yagambye nti abasajja baamutabukidde nga bamubuuza lwaki yeeyingiza mu nsonga ezitamukwatako nti era Nabenda naye bamussa mu mmotoka eyookubiri nga bwe bamukuba. Owa bodaboda eyabadde avuga Nabenda bwe yalabye bitabuse n’asimbula n’adduka.

Nabenda yagambye nti abasajja bwe baatuuse ku Jinja Road, emmotoka mwe baabadde bamutadde n’esiba era Nabenda ne bamusuula ebweru ne beggyawo. Mu kiseera ekyo, emmotoka enzirugavu yabadde takyasobola kumanya kkubo ly’ekutte. Yaddukidde ku poliisi ne baggulawo fayiro ku kuwambibwa kwa Baingana. Fayiro baagigguliddewo ku fayiro SD 25/23/2017 y’e Bukasa mu Munisipaali y’e Kira era omusango baataddewo gwa kuwamba muntu.

Amaka ga kojjaawe, Vicent Nabenda mwe baamugye e Bukasa.

 Baingana abadde abeera Bukasa mu Kizungu Zooni era we baamuggye ku Lwomukaaga akawungeezi. Akola ng’omuduumizi wa Kira Division Shifah Mutibwa yagambye nti batandise okunoonya Baingana nga beesigama kw’ebyo ebyabategeezeddwa abaabaddewo ng’atwalibwa.

Kyokka yagasseeko nti baabadde tebannazuula bikwata ku bantu baatutte Baingana n’ebigendererwa byabwe. Abamu ku baabadde bazze okwetaba ku mbaga obwedda bakubagana empawa ku kuwambibwa kw’omugole omusajja ng’abamu bagamba nti abaamututte bayinza okuba ab’ebyokwerinda nga balina ensonga ze bamwetaaza kyokka abalala nga bagamba nti biyinza okuba nga byekuusa ku mbaga oba emirimu

. Akulira ebyokwerinda e Bukasa Kizungu David Kitaamirike yagambye nti mu kunoonya baatuuseeko n’e Kisaasi gye baabadde babalagiridde omusajja asuuliddwa ku kkubo eggulo wabula baagenze okumutuukako nga si ye Baingana.

Emmere eyabadde etegekeddwa yasigadde ku masiga ate ekifo kya Alikoria Gardens e Bukasa we baabadde balina okusembereza abagenyi baabwe nakyo kyasigadde awo; nga weema n’obutebe by’ebikulaga nti waliwo omukolo ogwabadde gutegekeddwa kyokka ne gutabeerawo.