Bawambye omusajja omulala mu saluuni

Bawambye omusajja omulala mu saluuni

 Sekanabo akyabuze

OMUNTU omulala bamuwambye mu kitundu kye kimu gye baawambye omugole omusajja! Abantu mu kitundu basattira nga beebuuza ani ali emabega w’okuwamba abantu n’ababuzaawo.

Randwalid Sekanabo baamusanze mu saluuni y’e Bukasa mu Kizungu Zooni. Abasajja abaamututte baabadde musanvu era bajjidde mu takisi ng’essaawa zikunukkiriza 3:00 ez’ekiro kya Mmande.

Vannesa Mulungi eyabaddewo yagambye nti, abasajja olwatuuse ne babuuza omuvubuka ono nti: Ggwe Sekanabo? Omuvubuka olwakkirizza, ne bamuyoola ne bamussa mu mmotoka. Mulungi yagambye nti, yafubye okukoppolola ennamba y’emmotoka mwe baabadde era yawandiise UAL 748K.

Yagambye nti, ateebereza nti abasajja bano bwe batabeera bazigu, bandibeera ab’ebyokwerinda nga balina kye baagala Sekanabo abannyonnyole. Issa Tushabe eyabadde mu saluuni ng’asala enviiri naye baamuwambiddeko wabula bwe baamutuusizza ku kisaawe e Bukasa ne basimba emmotoka ne bamuggyamu ne bamusuula ebweru ne bavuga nga beeyongerayo.

Tushabe yagambye nti nga tebannamusuula bweru, baasoose kumagamaga ku njuyi zonna ne bakakasa nti teri muntu ajja. Yagambye nti, yeetegerezza abasajja bano n’alaba nga balina emmundu era teyakoze lutalo lwonna.

Baabadde teboogera kigambo kyonna. Mu kitundu kye kimu ekyo gye baawambye omugole James Baingana gwe baggye ku kasiki k’embaga ye ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde. Baingana ne gye buli eno tannaba kumanyika gy’ali era aba famire beeraliikirivu nga batya nti omuntu waabwe ayinza okuba nga yatuusiddwaako obuzibu.

Batalaaze poliisi zonna naye nga terikye bazuddeyo. Sekanabo naye tannamanyikako mayitire era poliisi ya Kira Divizoni yategeezezza nti bakyanoonya okuzuula abaamututte