Abavubuka bakubiriziddwa okukola bave mu kulera engalo

Abavubuka bakubiriziddwa okukola bave mu kulera engalo

Bya Florence Tumupende

AKULIRA ekitongole kya Operation Wealth Creation ( OWC ) mu mu Disitulikiti y’e Lwengo  Major Hussein Ssamba akuutidde abavubuka okwenyigira mu kukola bave mu bya “ TOGIKWATAKO” lwe banaggya okweggya mu bwavu.

Major Ssamba okwogera bino asinzidde ku mukolo gw’okutongoza ekibiina ky’abavubuka abegattira mu ‘KISEKKA YOUTH DEVELOPMENT SACCO’ kwabakwasiriza ebyalaani ebitunga bibiri ebibalibwa mu bukadde  2 ne bbaasa yamitwalo 50 ng’entandikwa y’okubakulaakulanya.

“Munsanyusiza nti mwe ebya ‘TOGIKWATAKO ‘ sibyemuliko. Mbadde nziggya ne nsanga omuvubuka ng’awogana nti Togikwatako,bwe mubuuziza enki gyolabula obutakwatibwako, anzizeemu kimu nti nange sigimanyi kuba mpulira buli omu kyayogera”

‘ Mu kifo abavubuka kyebandyenyigidde mu bibiina Gavumenti mwegenda
okuyita okubakulakulanya bawoza kimu Togikwatako kale mbasekeredde’
Ssamba bweyategeezeza.

Wano abakuutidde okujjumbira enteekateeka za Gavumenti eziba zibaleteddwa mu bitundu byabwe kuba tezisosola bibiina byabufuzi,eddiini n’obuwangwa nga abavubuka bwe babagenda nga bawudiisa bannabwe.

Ssamba yeyamye okwongera okubasakira mu mikwano gye singa bamulaga
ekifananyi nti baagala okukola.

Wabula akyuukidde abakulembeze b’ekibiina kino obutageza kubulankanya nsimbi z’abavubuka nategeeza nga bwe baggya okukolebwako ng’amateeka bwegalagira singa bagezaako okwenyigira munsobi.

Ye RDC Harriet Nakamya akuutidde abavubuka abawala okukomya okusabiriza abasajja ekibavirideko okubalengeza naddala mu maka gaabwe nabawa amagezi g’obutanyooma mirimu lwe banaggya okwekulakulanya.
      

Ekibiina kino kiweza ba memba 85 mu bbanga lya myaka ebiri bukya kitandikibwawo nga kikulirwa sentebe Aventino Ssentuma era ku lw’abavubuka alaze ekizibu ky’endwadde ezilumba ebisolo byabwe  omuli embizzi ekibavirideko okusasaanya ensimbi ennyingi,Ssamba nabasuubiza okumalawo ekizibu kino.