Omugagga Brian white adduukiridde kiraabu y'Express

Omugagga Brian white adduukiridde kiraabu y'Express

 Brian White ng'akwasa abakungu ba Express ssente

NGA kiraabu ya Express F.C yeetegekera omupiira gwayo ne Kiraabu ya URA ogusuubirwa okubaako n’obugombe ku lw’okubiri lwa wiiki egya, Omugagga omuto, Brian White abakubye enkata, abawadde ettu lya bukadde 7 mu mpeke zibayambe mu kweteegeka n’okubaako ebintu ebitono tono bye bakolako.

Abakungu ba kiraabu ya Exprees  n'abawagizi okubadde; Omulangira Jjuuko Walugembe akulira enzirukanya y’emirimu mu kiraabu eno, Joseph Gonzaga akulira abawagizi , Hajji Hassani Bulwaddea, Shamim Kirabo n’abalala olw’eggulo lwa leero basisinkanye omugagga Brian White ku Serena Hotel era bano basoose kumuyitiramu mu bimu ku bizibu ebibasoomooza omuli abazannyi obutaba na ngatto mwe basambira n’ebirala ne bamusaba abayambeko.

Mukwanukula, Briana White abawadde ssente n'asuubiza okwongera okubayamba ne mu bintu ebiraala.

“okwawuukanako n’abantu abalala nze Briana White nzize kuyamba abo abali mu bwetavu. Omupiira ngwagala ate Express nga Kiraabu ngiwagira kati mwe abakulembeze bwe munatambuza obulungi emirimu nze ndi mwetegefu okubayamba mw’ebyo ebikalubye oba ebigaanye.”

Brian White awadde abakulira Kiraabu ya Express amagezi bagule abazannyi abalungi era ab’ebitone nti kye kimu ku bijja okutwala kiraabu mu maaso era abasuubiza okubawa ssente mu nteekateeka eno.

Joseph Gonzaga akulira abawagizi ba Express mu kwogera asiimye Brian White olw’omutima gwe omugabi era ku lwa bawagizi ne ttiimu okutwaliza awamu asuubizza nti ttiimu egenda kwongera okulinyisa omutindo era ono akoowoodde n’abantu abalala okuvaayo okubaduukira.