Oluwaanyi ddagala ku ndwadde z'ensusu

Oluwaanyi ddagala ku ndwadde z'ensusu

OLUSUSU okubeera nga lunyirira kyeyagaza kubanga omuntu abeera alabika bulungi. Olususu luyinza okufuukuuka olwendwadde ez'enjawulo oba ng'obuzibu buva ku ngoye z'oyambala oba ekitundu mw'oli oba ng'olina kyolidde omubiri kye gutayagala. Oluusi tekiba kyangu kujjanjaba ndwadde zino naddala ku bantu abagayaavu eri emibiri gyabwe.

Matia Mulumba omutuuze w'e Mwera Busujju yagambye nti omuti oguyitibwa omulamula abamu gwe bamanyi ng'oluwaanyi tegukoma ku kulamula bibanja byokka naye ddagala lya maanyi ku kulongoosa endwadde z'ensusu.

Ssinga oba olwadde namusuna weekwate oluwaanyi okuwona amangu. Okwejjanjaba sima emirandira gy'oluwaanyi ogirongoose bulungi oluvannyuma giteeke mu sefuliya ofumbe okumala ebbanga.

Bw'obiggya ku muliro linda biwolemu okenenulemu amazzi oganaabe. Mu nnaku ntono ebitulututtu ebikubye ku mubiri bitandika okukala. Oba oyinza okusima emirandira n'ogirongoosa oluvannyuma n'ogyanika. Bwe gikala gisekule ofunemu ensaano gy'otabula mu bizigo.

Ebizigo mwotadde eddagala bw'obisiiga omulwadde wa namusuna awona mangu. Eddagala lye limu liwonya endwadde z'ensusu nga olusolo, likaza n'ensundo n'okulwanyisa embalabe.

Oluwaanyi era lukola bulungi mu kyogero ky'omwana ate abantu abakulu balweyambisa mu kyogo wabula onoga ebikoola n'obiyengera mu ddagala eddala eribeera mu kyogo