Enkaayana z'ettaka e Makindye zisitudde omulamuzi wa Kkooti Enkulu

Enkaayana z’ettaka e Makindye zisitudde omulamuzi wa Kkooti Enkulu

 Omulamuzi Damalie Lwanga ng’alambuzibwa ekifo.

ENKAAYANA z’abatuuze ku ttaka erimaze emyaka 10 nga likaayanirwa zisitudde omulamuzi wa Kkooti Enkulu, Damalie Lwanga n’agenda yeetegereze ani mutuufu era bonna abali mu musango abalese emitima gibeewanise nga tebamanyi kiddako.

Abatuuze ku kyalo Kigagga Zooni ekisangibwa ku luguudo lwa Salama e Makindye baaweddeyo okuwulira n’okulaba kkooti bw’etuula okutaasa batuuze bannaabwe okuli; Joseph Nsiiro ne Dr. Siraje Lumala abaagala okuttihhana. Dr. Siraje Lumala ye yawawaabira munne Joseph Nsiiro nti yazimba mu ttaka lye. Kyokka Joseph Nsiiro amaze emyaka egisoba mu mukaaga nga yamaliriza dda ennyumba ye era nga n’abaamuguza abeera nabo ku kyalo yamwewuunyizza.

Omulamuzi Lwanga yapimye ettaka ly’abatuuze ababiri wakati mu byokwerinda ng’oludda lwa Joseph Nsiiro olwamuguza lutudde bbali luwuliriza. Looya Chrizestome Katumba owa kkampuni ya Lukwago and Co. Advocates awolereza Dr. Siraje Lumala eyatwala omusango mu kkooti yasoyezza ebibuuzo abaaguza Joseph Nsiiro ekifo we yazimba.

Keeti Nambalirwa ne Bruhan Sserunjogi baawolerezza Joseph Nsiiro nti ekitundu kye baamuguza kye yazimbamu era bo beetegefu okugenda wonna nga bamuwolereza. “Ekibanja kyaffe kyali kyawulwa mwala omunene era gukyaliwo. Ffe abaamuguza tukyaliro era naye aleete abamuguza ensonga tugimalirize,” Nambalirwa bwe yagambye. N’ategeeza nti ekitundu Dr. Lumala ky’akaayanira agezaako kunyigiriza munne kyokka nga bakyali ku nsi tebagenda kumukkiriza.

Baasabye omulamuzi abasalirewo eggoye kubanga ekifo ekyo kisobola okuvaako obulabe eri abatuuze. Kyokka Dr. Lumala yategeezezza omulamuzi nti ye yagula ffuuti 141 era n’ekiseera kino ku ndagaano bwe bagisoma basobola bulungi okuzipima. Wabula looya wa Nsiiro, Allan Tumwesigye bwe yamubuuzizza oba balina obubonero bwonna bwe baasimba okwawula ettaka n’agamba nti tewali.

Baamubuuzizza lwaki endagaano gye baasooka okukola tekwaliko ffuuti ze yagula ne yeewozaako nti teyaliiwo. Omulamuzi Damalie Lwanga asuubira okuwa ensala ye nga October 30, omwaka guno. Olutalo okusajjuka kiddiridde ekitongole ekikola enguudo okwagala okumenyawo amayumba gano kigaziye oluguudo lwa Salaama Road kyokka nga tekimanyi gwe kigenda kuliyirira