Museveni asoomoozezza abamulumiriza 'okubba ettaka'

PULEZIDENTI Museveni asomoozezza omuntu yenna alina obujulizi obulaga nti alina ettaka ly’abbye mu myaka 31 gy’amaze mu buyinza abuleete.

Pulezidenti Museveni ng'ayogera

Pulezidenti Museveni ali mu bukiikakkono bwa Uganda ng’agenda asomesa abantu ku ntegeka z’okussa mu Konsityusoni akawayiro akakkirizza gavumenti okutwala ettaka ly’abantu okukolerako emirimu egizimba eggwanga bannyini lyo ne bwe baba bakyakaayana nti tebaliyiriddwa kimala.

‘’Ettaka lyokka lye nnafuna mu disitulikiti y’e Otuke lyali lya kulwanyisa Kony era kati liriko nkambi y’amagye era teryali lya kulwanyisa Kony yekka wabula n’Abakaramoja ababbi b’ente’’ Museveni bwe yategeezezza ng’ali ku leediyo Unity FM e Lira mu Lango.

Museveni yagambye nti bakirimululu be balemesezza akawaayiro k’okukyusa Konsityusoni akawa gavumenti obuyinza okutwala ettaka ly’omuntu okukolerako ebigasa eggwanga nnyini lyo ne bw’aba akyawalira olw’ensimbi ezimuweebwa.

Yagambye nti bakirimululu bawanika ebbeeyi y’ettaka nga baagala okutwala ssente za gavumenti ennyingi ne balemesa enkulaakulana okutojjera.

Yagambye nti  mu kukola oluguudo lw’e Soroti waliwo eyalemesa UNRA, mu bugenderevu bwe yagaana okuguza gavumenti ettaka aw’okuyisa oluguudo.

N’agamba nti mu tteeka ePpya atamatidde na nsimbi zimuweereddwa mu kuliyirirwa asobola okugenda mu kakiiko akatawulula enkaayana z’ettaka ku nsonga zino ne basalawo oba bamwongera oba nedda kyokka ng’emirimu gya gavumenti gisigala gigenda mu maaso.