Abazadde basabiddwa okuwagira talanta z'abaana

Abazadde basabiddwa okuwagira talanta z'abaana

AKULIRA eby’enjigiriza mu ggombolola ye Lubaga, Phiona Arinaitwe asabye abasomesa okukomya okumalira abaana mu kusoma eby’ekibiina obudde obuwanvu wabula babayigirize n’ebintu ebirala beyongere okufuna obukugu.

Arinaitwe ategezezza nti amasomero singa gayigiriza abaana eby’emizannyo, okuyimba ssaako okuyiga okukuba ebivuga eby’enjawulo kiyinza okubayambako okufuna emikisa eri abasobola okubayamba okutumbula bye baba bayize.

Bino Arinaitwe abyogeredde ku ssomero lya Good times Kawaala  bw'abadde atikkira abayizi 180 ab’ekibiina kya Top class okuyingira mu pulayimale esooka.

Ayongedde n'asaba abasomesa okuwa ssente z’ebisale bye ssomero ekitiibwa nga basomesa ebyo byokka ebigasa abaana ssaako okukomya okubaleka bakyame mu mize emibi kibayambe okukula nga bamugaso.

Ono era akuutidde abazadde okufaayo okuwerera abaana baabwe baleme kubonaabona nga bakuze ekibaviirako okuyingira ebikolwa ebikyamu.

Ye omutandisi w’essomero lino, Ronald Mpagi ategezezza nti basobodde okusomesa abayizi ne bafuna ekyo kye beetaaga mu kusoma wabula n'ategeeza nti waliwo ebisomooza bingi omuli emisolo egibagerekebwako olumu egitataaganya enteekateeka z’essomero.

Ono ayongedde n'asaba minisitule y’ebyenjigiriza okuvaayo esomese amasomero ku “Homework” gwe baaganye okuwa abaana abali mu bibiina eby’awansi ky'agambye nti kino bwe kikolebwa kiyinza okugotaanya ensoma y’omwana.

Oluvannyuma abayizi abaatikkiddwa baasaze keeki eyagabuddwa abayizi abalala saako abazadde abetabye ku mukolo guno.