Aba Korea Trump bamusalidde gwa kufa

BAKKOMANDO ba North Korea ne Pulezidenti waabwe Kim Jong Un basazeewo Donald Trump Pulezidenti wa Amerika bamuwe ekibonerezo kya kufa nga bamuvunaana okubayisaamu amaaso n’okutyoboola bajjajja baabwe abaakola ennyo okuzimba eggwanga lyabwe.

 Pulezidenti Trump ng’ayogera mu lukiiko mu Washington.

PYONGYANG

BAKKOMANDO ba North Korea ne Pulezidenti waabwe Kim Jong Un basazeewo Donald Trump Pulezidenti wa Amerika bamuwe ekibonerezo kya kufa nga bamuvunaana okubayisaamu amaaso n’okutyoboola bajjajja baabwe abaakola ennyo okuzimba eggwanga lyabwe.

Nga bayita mu lupapula lw’amawulire ga Gavumenti oluyitibwa Rodong Sinmun, baategeezezza nti bakooye Trump okumala googera buli kimujjyira mu bwongo n’atuuka n’okusimattuka ebigambo ebityoboola abakulembeze baabwe. Baategeezezza nti wonna we bamukwattirako ekibonerezo we bamukimuweera!

Bwe yabadde ku lugendo mu mawanga okuli; Japan, South Korea, China, Phillipines ne Vietnam, Trump yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa ‘Twitter’ nga yeewuunya lwaki Kim amuvuma ng’ate ye takyogerangako nti Kim Jong Un mumpi ate yagejjulukuka alindiririra kwabika nga baaluuni.

Bakkomando ba North Korea baateegezezza nti beewuunya omusajja omutiitiizi nga Trump eyalemereddwa n’okulinnya ekigere ku nsalo ya North Korea ne South Korea mu kifo ekyatuumibwa DMZ nga Bapulezidenti banne aba Amerika bwe babadde bakola.

Trump yalemereddwa okutuuka mu kifo ekigambibwa nti kye kisinga okutiisa mu nsi yonna, bwe yabadde akyadde mu South Korea oluvannyuma lw’abakuumi be aba ‘Secret Services’, okuyimiriza ennyonyi eya Marine One ng’ebula eddakiika ttaano atuukeyo.

Abakola ku nsonga z’entambula ya Pulezidenti baategeeza nti obudde bwaali bubi ng’omugoba w’ennyonyi talaba gy’alaga kyokka aba North Korea balumiriza nti buno bwali butiitiizi.

Kim ng’ali ne bakomando be

 

TRUMP AYONGEDDEYO ABAJAASI

Eno North Korea ebadde ekyererejja n’okusalira Trump ogw’okufa, ye n’ayongera amagye amalala okwegezaamu engeri gye banaakuba North Korea bagimalemu amampaati.

Okwegezaamu kuno okugenda okumala ennaku 10 kwegasse ku kubadde kwakamalirizibwa okwatandika ku Lwomukaaga oluwedde. Okwegezaamu kugenda kuba ku kizinga kya Japan ekiyitibwa Okinawa era ng’oggyeeko olukunkumuli lw’amagye g’ayiyeeyo, kuliko n’emmeeri ezeetikka ennyonyi eziyitibwa Aircraft Careers okuli, USS Ronald Reagan, USS Stethem, USS Chafee ne USS Mustin.

Bino biwalirizza omubaka wa North Korea mu kibiina ky’amawanga amagatte Ja Song Nam okuwandiikira ssaabawandiisi w’ekibiina kino Antonio Guterres, nga bavumimirira ekikolwa kya Amerika okukuluumulula amagye gano ng’akabonero k’olutalo.

Naye n’alayira nti bwesumulula omukka n’ebyokulwanyisa bya nukiriya nga babitunuzza mu Amerika tewaba abagambako babaleke ‘beesotinge’ ne Trump!