Mukunge abantu okukola so ssi kusaba kwokka - Museveni

PULEZIDENTI Museveni akunze abakulira enzikiriza ez’enjawulo bakunge abantu bakole emirimu egibaggya mu bwavu baleme kukoma ku kusaba ssaala zokka.

 Museveni ng’abuuza ku bamu ku beetabye mu kusaba. Ku kkono ye Bp. Dunstan Bukenya

Yabadde mu kusaba kw’okwebaza okumalako omwaka 2017 ku State House e Ntebe ku Lwokutaano n’agamba nti enkola egamba nti yagala muliraanwawo nga bwe weeyagala esaana okukola wakati w’Abakristaayo n’Abasiraamu okusobola okweggya mu bwavu.

Museveni yawadde ekyokulabirako eky’abantu ku kyalo ky’e Ntangaalo mu disitulikiti y’e Rubiriizi nti amaka 68 ku 100, ge maka 2500 emmere balimawo ya kulya tebalina kintu kye baggyamu ssente.

Wano we yeewuunyirizza nti abantu basobola okubeera mu mbeera eyo so nga mu kitundu mulimu Ekkanisa, Klezia, Emizikiti n’amasinzizo amalala.

Yabakuutidde nti, Amerika gye beegomba nayo yali bubi naye yazimbibwa Bakristaayo oluvannyuma n’ewambibwa ab’empisa ensiiwuufu.

Okusaba kwakulembeddwa Paasita Fred Wantante ow’ekkanisa ya Full Gospel e Makerere eyakuutidde abantu okwagala balabe baabwe.