Ab'e Mawokota South banaabidde omubaka waabwe mumaaso

Ab'e Mawokota South banaabidde omubaka waabwe mumaaso

ABALONZI ba Mawokoto South mu Disitulikiti ye Mpigi beerayiridde nga bwe batandise kaweefube w’okunoonya emikono egiggya obwesige mu mubaka waabwe John Bosco Lubyayi olw’okubalyamu olukwe n'awagira okukyusa ssemateeka w'eggwanga.

Bano nga bakulembeddwaamu abakulembeze booludda oluvuganya Gavumenti okuli  ssentebe wa D.P owa Mawokota South Simon Peter Kawuki n’akulira abakyala mu kibiina kya D.P Teddy Namboze basinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire lwe batuuzizza ku Klezia ya St .Kizito Sub Parish e Kayabwe  ne bategeeza nga bwe batandise edda okutalaaga emiruka gyona nga banoonya emikono.

Bano ababadde batasalikako musala bagambye nti tebayinza ku kkiriza muntu atali mwesimbu ku bakulembera ng’ate yabamalira obudde nga bebuzaako n'abamuwa endowooza zaabwe nga bawakanya ekyokukyusa akawaayiro 102B aka ssemateeka we ggwanga akawagira okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Kawuki agambye nti Lubyayi asaana kutwalibwa Butabika akeberwe omutwe okukasa ddala oba gukola bulungi kubanga bye baamutuma sibyakola nga tebalaba nsonga lwaki bamutunuulira obutunuulizi.

Teddy Nambooze asabye abalonzi okutandika okuboola ababaka abakikirira mu Disitulikiti eno ababaliddemu olukwe okuli ne minisita we by’obusuubuzi Amelia Kyambadde kyokka ne basiima omubaka omukyala owa Disitulikiti  ye Mpigi Sarah Temulanda Nakawunde olw'okulaga obuvumu n'atuusa eddoboozi lyabwe.