Bp. Ssebaggala asabye ababaka ba palamenti beenenye olw'okuva ku birowoozo by'abalonzi

Omulabirizi w’e Mukono, James William Ssebaggala asabye ababaka ba palamenti okudda ku mavi beenenye eri Katonda olw’okuva ku ndowooza z’abalonzi baabwe abaabalonda okugenda mu palamenti okubakiikirira ne basalawo okuwaayo endowooza ezaabwe ng’abantu.

 Bp. Ssebaggala ng'ayogera eri abakulisitaayo mu Lutikko e Mukono mu kusaba kwa ssekukkulu. (ekif. Henry Nsubuga)

Bwe yabadde akulembeddemu okusaba okw’amazaalibwa ga Yesu ku Lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya e Mukono, Bp. Ssebaggala yagambye nti si ku lw’ababaka bokka abakkirizza okukwata ku ssemateeka wabula n’abo abagaana ssinga kiba ng’abalonzi baabwe baali babatumye nti ssemateeka akwatibweko.

“Kikyamu okulonda ng’ogamba nti ku lw’abantu be nkiikirira mu konsituwensi gundi ate ng’okimanyi eyo ndowooza yiyo nga muntu so.

Okulimba okwakoleddwa awo ababaka kye kiseera beekube mu kifuba beenenye nga n’omwaka guno tegunnaggwako,” SSebaggala bwe yannyonnyodde.

Ssebaggala era yennyamidde olw’engeri ababaka ba palamenti gye beeyisaamu etuuse n’okubambulako ekitiibwa ekibaweebwa eky’obwa honalebo.

Yagambye nti kikyamu omubaka okulinnya ku mmeeza mu palamenti sso ng’abalala baasalawo kwekuba butebe n’okukozesa ebyuma by’emizindaala okubyekubisa.

Omulabirizi era yalaze okunyolwa olw’engeri ensi gy’etambulamu ensangi zino omuli okulya enguzi nga gwafuuka musono ogutuuse n’okutongozebwa ebe ng’eriibwa kyere, obubbi, obulyake, obukenuzi n’emize emirala mingi.

Yanokoddeyo abavubi abakozesa obutwa okutta ebyennyanja n’abo abakozesa obutwa okukwata enseenene ne bamala ne babiguza abantu, abakinjaagi abakozesa eddagala erikubibwa mu mirambo erya vamalin okulikuba mu nnyama okusobola okugoba ensowera n’abakwata enseenene bano abakozesa eddagala ery’obutwa n’asaba ababadde beenyigira mu bikolwa ebyo beenenye badde eri omukama bave mu bikolwa ebyo.

Okusaba kuno kwetabiddwamu n’abantu bangi omubadde omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaggwe, Alex Benjamin Kigiongo Kikonyogo, omulamuzi eyawummula Lameck Mukasa, eyali omuwanika wa Buganda, Eva Nagawa n’abalala bangi.