Ebigaanye mu mwaka oguwedde mubimalirize mu mwaka guno-Bobi Wine

Omuyimbi era omubaka wa Palamenti owa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine yagumizza abadigize obutaggwaamu maanyi wabula bakole nnyo ebyo ebibalemye okutuukiriza mu mwaka oguwedde basobole okubituukiriza mu mwaka guno 2018.

 Bobi Wine ng'ayimba ku Colline Hotel e Mukono ku Lusooka omwaka. (EKif. Henry Nsubuga)

Bobi Wine yabadde mu Colline Hotel e Mukono ku Lusooka nga ye ne bayimbi banne abalala bayimbira abantu abaavudde mu bitundu bya Mukono n’emiriraano.

Bobi Wine yabalabudde nti Uganda ng’ensi esingamu abavubuka abangi abali mu myaka emito tebasaanidde kwekubagiza wabula ekyo bakikozese ng’omukisa okusobola okukola ennyo beggye mu bwavu n’okukola okusalawo okunaabayamba mu bulamu obw’omumaaso.

Yagambye nti ssinga banaalemererwa okwekolera kw’ebyo bye balina okwekolera ku myaka emito, baakulaba ennaku kuba baakukaddiwa nga baavu era balunkupe.

Abayimbi abalala abaasanyusizza abantu kuliko; Gravity Omutujju, Big Eye ne Victor Kamenyo.