Obubaka bwa Katikkiro Mayiga ku kufa kwa Nkoyooyo

Obubaka bwa Katikkiro Mayiga ku kufa kwa Nkoyooyo

CHARLES PETER MAYIGA;Kitalo nnyo ekya Ssabalabirizi Nkoyooyo. Okusooka twebaza Katonda obulamu bweyamuwa ate tumwebaza ekitone eky'obukozi. Ssabalabirizi mu buwereeza bwe bwebubadde,omukululo alese mukwafu ndowooza nga yakafuuka Ssabalabirizi yazimba ennyumba ya Ssaabalabirizi wali e Namirembe.

Bweyali e Mukono ng'Omulabirizi yakola ebintu bingi. Mulaba Church House yateekamu ggiya ennene okulaba nga tugiraba awo wetuuse.

Ekaddiyizo ly'abajjulizi e Namugongo mu Bakulisitaayo era oyinza okugamba nti enju eyo ebadde ku mutwe gwe gwenyinni yenyinni.

Ate abadde n'enkolagana essuka ekkanisa n'etuuka ku bagoberezi abalala era mu mikwano gye abangi oyinza n'okusanga abeddiini endala bebasinga n'obungi.

Kale tufiriddwa nnyo. Naye olwokuba obuwereeza bwe bubaddemu ebibala,tetujja kukaaba ng'abatalina ssuubi kubanga Katonda amukozeseza ebirungi bingi era tumwebaza nti yamusobozesa okukola ebintu ebyo.

Ate n'ono gwebawa ebitone natabituulira nabikozesa,tusaba Katonda bwabeera amulamula,amulamuze kisa.