Omuzungu alemeddeko: Ayagala ebyobugagga bya SK. Mbuga biboyebwe

EBY’OMUGAGGA SK Mbuga, 34, ne mukyala we Jalia Birungi,33, (Angela Vivienne Chebet) tebinnaggwa.

Omuzungu Sten Heinsoo ,71, abalumiriza okumufera obuwumbi bwa ssente akombye kw’erima, ayagala ebyobugagga byabwe biboyebwe asobole okwesasula ssente ze.

Wadde Mbuga agamba nti omusajja ono tamumanyi era takolaganangako naye wadde okumusisinkana amusibako matu ga mbuzi kumuliisa ngo n’okwagala okumwonoonera erinnya.

Sten Heinsoo nga munnabyabufuzi, enzaalwa y’e Sweden agamba nti bano baamufera obukadde bwa Krona (ssente za Sweden) 55 mu za Uganda obuwumbi 23 mu ddiiru ya zaabu akalambidde ng’agamba nti alina obujulizi obumala okulumika ababiri bano era ng’oggyeko poliisi y’e Sweden okubayigga babitebye, Sten ayagala n’ebyobugagga byabwe biboyebwe.

Sten yagwawo ekigwo ng’alabye ebifaananyi by’embaga ya Bambuga n’obugagga bwabwe era agamba bano beeyagalira mu ssente ze kyokka Mbuga agamba ebyobugagga bye balina babiggye mu ntuuyo zaabwe mu bizinensi ez’enjawulo ze bakola.

MBUGA Y’ANI

Suleiman Kabangala amanyiddwa nga Mbuga mwana nzaalwa y’e Masaka nga mutabani w’omugenzi Sulaiman Kabangala.

Y’omu ku bavubuka abamanyiddwa okulaga ssente mu Kampala ng’azze akola ebintu ebyewuunyisa n’okuleka abamu nga bamunyenyeza mutwe abalala nga beebuuza w’aggya ssente.

Ekimu ku bintu ebimuwa essanyu kwe kuvuga mmotoka ez’ebbeeyi era ng’oggyeko okutambulira mu luseregende lwa mmotoka ze, mu November wa 2016 yeetegekera embaga yaabwe kwe yasaasaanyiza obuwumbi bwa ssente okugula mmotoka bbiri okuli Ferrari ne Roussos mwe baatambulira.

Emmotoka zino bye bimu ku bika bya mmotoka ezisinga okuba ez’ebbeeyi mu nsi. Zino yazigatta ku bika ebirala by’alina okuli; Range Rover Sport Vogue, Benz eziwerako, BMW, Jeep, Hummer n’endala.

EBYOBUGAGGA BYE EBIRALA

  • Azimba eddwaaliro ery’omulembe eddene e Makindye mu Kiwempe zooni.
  • Alina kkampuni eziwerako okuli egula n’okutunda eby’obugagga by’omu ttaka gy’agamba nti yeesinga okumuwa ssente.
  • Mbuga y’omu ku bantu abalina ebizimbe mu Kampala nga n’ebisinga bipangisibwa okusulamu nga byamulembe (Apartment’s), eby’amaduuka ssaako amaka amanene (agasinga mulimu bapangisa) nga mu bitundu by’e Buzinga wokka awezaamu ebizimbe 8.
  • Alina bizinensi e Dubai (gy’abeera mu kiseera kino), e South Africa, China n’ awalala.
  • Alina ekibiina kya SK Mbuga Foundation mw’ayita okugaba obuyambi eri abantu, okuzimba emizikiti n’ebirala.

POLIISI EYOGEDDE

Vincent Ssekate, omwogezi wa poliisi ya Interpol mu Uganda bwe yabuuziddwa ku nsonga eno yategeezezza nga bwe batannaba kufuna kumanyisibwa kwonna okuva e Sweden ku nsonga zino.

“Ebyogerwa mbiwulira mu bantu naye nga Interpol tetunnafuna kumanyisibwa wadde okusabibwa poliisi y’e Sweden okugiyamba mu nsonga eno.