Nnakawere bamukutte n'ebibbe mu supamaketi ya Mega Standard

NNAKAWERE bamukwatidde mu supamaketi ng’abba ne yeekaliza mu baserikale nti ye abadde atoolako butoozi tabbye.

Doreen Ayebare Hatega 28, omutuuze w’e Seeta yeyakwatiddwa mu Mega Standard  Supermarket ku paaka enkadde ng’abbye ebizigo kyokka abaserikale bwebaamukutte yabategeezezza nti ye tasobola kutindigga lugendo kuva Seeta kugenda kubba bizigo na kawembe k’ekika kya Bic byokka.

Ono yakwatiddwa n’ebintu bye yabadde abbye ng’abitadde mu nsawo afuluma bwe baayisizza ensawo mu kyuma, abaserikale kwekulaba ekikebe ky’ebizigo n’akawembe mu nsawo ng’abifulumya kyokka bwe baamubuuzizza n’abategeeza nti yabadde ayingidde nabyo.

Bwe baamulemeddeko, n’abategeeza nti ensawo ye erimu ssente yabadde agirese ku mulyango omulala yabadde afuluma n’ebintu agende akime ensawo ye addeyo asasule we baamukwatidde.

Ono yabadde n’omwana ku mugongo era abaserikale bwe baamulemeddeko ennyo kwe kubategeeza nti, yabadde tasobola kuva gy'avudde yonna kubba buntu bwa 20,000/- bwokka ku bintu ebingi bye balina.

Yagambye nti, yabadde ava ku kkanisa ya Kayanja e Lubaga kwe kuyitirako mu supamaketi eno agulire omwana we amata ekika kya Nan wabula nga tebagalina kwe kusitukira mu bizigo.