'Chameleon nsasula obukadde 53'

OMUYIMBI Jose Chameleone (Joseph Mayanja) atwaliddwa mu Kkooti Enkulu lwa kuggya ssente 53,000,000/- okuva ku 'pulomoota' eyamusasula ssente okukola ekivvulu kya Wale Wale mu South Africa n'atalabikako ku lunaku lw'ekivvulu.

 Omuyimbi Jose Chameleon

Bya ALICE NAMUTEBI

OMUYIMBI Jose Chameleone (Joseph Mayanja) atwaliddwa mu Kkooti Enkulu lwa kuggya ssente 53,000,000/- okuva ku 'pulomoota' eyamusasula ssente okukola ekivvulu kya Wale Wale mu South Africa n'atalabikako ku lunaku lw'ekivvulu.

Zaina Muwonge nnannyini kkampuni ya Sezana Promotions agamba nti, Chameleone amufeze emirundi ebiri nga bakkaanya agenda e South Africa kyokka alaba ennaku z'ekivvulu zinaatera okutuuka ng'essimu ze zonna aziggyako.

Agamba nti mu 2015 yawa Chameleon ssente 25,000,000/- nga bakkiriziganyizza agende abeere mu bivvulu okumala ennaku ssatu mu bibuga Pretoria, Cape Town ne Durban e South Africa.

Nti ng’amaze okumusasula obukadde 25, yamuweereza ssente endala obukadde 12 akole ku by'entambula ye n’ekibinja kye.

Muwonge annyonnyola nti yagenda mu maaso okupangisa wooteeri ey’omulembe Chameleone n’ekibinja kye we baalina okusula n'akubisa n’ebipande ebiranga ebivvulu kyokka ku lunaku Chameleon lwe yalina okulinnya ennyonyi agenda e South Africa n’ekibinja amasimu ge gonna yagaggyako.

Ng’ayita mu kkampuni ya Lukwago and Co. Advocates, Muwonge agamba nti, mu 2016 Chameleone yamukubira essimu nga yeetonda olw'ebyo ebyatuukawo ne bakkiriziganya bakole ekivvulu ekirala agende ayimbe.

Muwonge agamba nti ekivvulu ekyokubiri nakyo kyali kya kumala ennaku ssatu mu bibuga Durban, Pretoria ne Cape Town era yagenda mu maaso okusasula wooteeri n’okukubisa ebipande kyokka Chameleone yamuzannya obuzannyo bwe bumu n'aggyako essimu ze ku lunnaku lwe yalina okulinnya ennyonyi era e South Africa teyalinnyayo.

Yagambye nti ebikolwa bya Chameleone bimuviiriddeko okumwonoonera erinnya mu bizinensi y’okuyimba n’okufiirizibwa ssente era asabye kkooti eragire Chameleone amuliyirire ssente obukadde 53 n'ez'okumwonoonera erinnya.