Basabye emirimu gy'obulaalo ku kyalo ne babba ente

MOHAMMED Lutwama, Norman Kaleb ne Charles Ataawe nga baaliko mu magye beefudde abalaalo ne basaba emirimu gy'okulunda ente mu muluka gw'e Kirinnya mu Divizoni y'e Bweyogerere mu maka ag'enjawulo n'oluvannyuma ne bazitikka ku Fuso ne bazitwala.

 Kalema (ku ddyo) ne Lutwama

Bya MADINAH NALWANGA

MOHAMMED Lutwama, Norman Kaleb ne Charles Ataawe nga baaliko mu magye beefudde abalaalo ne basaba emirimu gy'okulunda ente mu muluka gw'e Kirinnya mu Divizoni y'e Bweyogerere mu maka ag'enjawulo n'oluvannyuma ne bazitikka ku Fuso ne bazitwala.

Abatuuze b'e Kirinnya abasoba mu 15 be babbyeeko ente ne beekolamu omulimu ne bakwata Mohammed Lutwama 42 eyawummula amagye ku ddaala lya Sergent nnamba RAV/125517 S/SGT, nga mutuuze w'e Kitintale ne Godfrey Kalema 23 eyava e Katosi.

Kalema agamba nti, babadde balundira wamu n'abantu bano mu muluka gw'e Kirinnya gwonna ng'oluusi bagendako e Namanve ne Bukasa.

Ku lunaku lwe baazibbye, ye baamugamba addeyo awaka afumbe emmere naye bwe zaawera essaawa 11 nga tebadda kwe kugenda abanoonye wabula n'asanga nga zitaayaaya kyokka nga tezikyawera.

Ate Lutwama okusooka nga baakamukwata, yategeezezza nti ente ziri ku ffaamu emu e Nakasongola wabula olwamutuusizza ku poliisi, yagaanyi okubeerako ky'ayogera.

Ku nte ze babbye kuliko eza; Robinah Namayanja, James Kasumba, Catherine Nakaggwa, Allen Nansubuga, Jonathan Katali ne Fred Ssennabulya n'abalala.

Baalumirizza Kalema okuleeta abasajja bano ne basaba emirimu nga bakolera wamu. Abakwate babagguddeko ogw'obubbi ku SD REF: 22/10/01/2018 ku poliisi e Kirinnya.